Bya Moses Kizito Buule.
PULEZIDENTI Yoweri Kaguta Museveni akangudde ku ddoboozi, nawera okugoba abakozi mu bitongole bya Gavumenti bonna abakuze mu myaka bayogeddeko nga abatakyalina kye basobola kukola nagamba nti agenda kubasikiza abavubuka abakamala okusoma abalina ku maanyi.
Museveni agamba nti kati amaze okukiranba nti abavubuka bangi tebalina mirimu, kyokka nga balina obumanyirivu mu mirimu egy’enjawulo gye basobola okukola mu bitongole bino okusinga abaludde mu bifo nga n’okukaddiwa bakaddiye, nagamba nti basaana bawummule.
okwogera bino yabadde ayogerera mu lukung’aana olw’omulundi ogwa 25 ogw’ekitongole ekilwanirira obwerufu mu Ggwanga ki Transparency International Uganda olwabadde ku woteeri ya Imperial Royale mu Kampala ku lw’okubiri, ne kigendererwa eky’okuwagira abatuuze nabo okwetaba mu kulwanyisa enguzi mu Ggwanga.
Museveni eyabadde omugenyi omukulu ku mukolo guno yagambye nti abakozi ba Gavumenti abalya enguzi amaze ebbanga ddene nga abalondoola era nabamu nabalabula nagamba nti kuluno balina okukimanya nti obudde bwabwe buweddeyo ekiddirira bonna kubakwata ku nkoona basikizibwe abavubuka abaggya, abalina amaanyi n’obumanyirivu okusobola okutwala e Ggwanga mu maaso.
Yanyonyodde nti mu 1986 webajjira mu buyinza baasooka ne batya okukyusa abakozi ba Gavumenti, olw’okuba baali batya nti bayinza okuddamu ne bawagira abayekera, nti naye kati balina obuyinza bwonna n’obusobozi okukyusa abakozi nga teri abakuba ku mukono.
Yanokoddeyo ebitongole omuli URA, KCCA ne Banka enkulu, nti muno mulimu kawukuumi mungi eyetaaga okujjamu mu bwangu, kuba bwe batamwanguyira ayinza okuvaako eggwanga okudda emabega.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com