Bya Moses Kizito Buule
MUNNAMAGGYE eyawummula Major General Wasswa Kasirye Ggwanga oluvanyuma lw’okukuzibwa era n’awummuzibwa mu maggye ge Ggwanga, kati asazeewo okuddayo mu kitundu gy’azalibwa e Mubende addemu avuganye ku kifo ky’obwaSsentebe bwa Disitulikiti.
Kasirye nga yaliko Ssentebe wa Disitulikiti eno wakati w’omwaka gwa 1996 ne 2001, agamba nti Mubende ayononese nnyo okuva bwe yaliyo nga amukulembera, nti era n’omutindo kwe yamuleka gw’asebengerera dda, nga kati abaliyo tebafaayo kubaako kye bakola kiyamba bantu nga bwe yakolanga, okujjako okubba ensimbi z’omuwi w’omusolo.
Omusasi wa The WatchDog Uganda yamukyaliddeko ku ssande ku faamu ye emanyiddwa nga CAMP DAVID esangibwa ku kyalo Bbanda Kyandaaza mu Gombolola ye Nakisunga e Mukono, nga wano we yasinzidde n’alangirira nti addayo ewaabwe e Mubende mu lwokaano lw’obwaSsentebe bwa Disitulikiti.
Ono eyalabise nga mumalirivu nnyo mu mboozi ye yatottodde bwati.” Nze Kasirye Ggwanga sisobola kutuula butuuzi eno mu faamu yange gye munsanze ne ntunula nga ebintu ewaffe bigenda bubi, baana bange ekyo tekisoboka, nakola ebintu bingi we naberera omukulembeze wa Disitulikiti ye Mubende era abantu ne b’ampa ne kitiibwa ekya Gorvoner. Disitulikiti eyo ye yali eky’okulabirako mu kiseera ekyo mu Uganda yonna, naye kati yeemu ku ezo zi nnamba lujega omuntu z’atakyegomba yadde nakamu, mbalayirira elina okuddayo gye yali kanzireyo.
Mu kiseera ekyo twakola ebintu bingi ate nga tukolaganiranga wamu n’abantu b’ebitundu, mu mirimu gye twakola mwalimu okutindira emigga gyonna kuba ebiseera ebyo gyali gikoseddwa nnyo olutalo olw’aleeta Gavumenti yaffe mu buyinza, nayigiriza abantu okulima mu nnima ey’omulembe, era abatuuze mu Mubende eyawamu baali tebakyasaka mmere, nga balina ebamala okulyako mu maka gaabwe, n’okutunda n’ebatundako okusobola okusomesa abaana baabwe.
Emmwanyi mu kiseera ekyo kye kimu ku birime bye nayigiriza abantu okulima, era mu kiseera ekyo nayagala nnyo buli muntu alina ettaka elimala okubaayo ne ku musiri gwe mmwanyi, kuba kyali kirime kya bbeeyi abatuuze bange kye bafunangamu ensimbi, era nayagazisa abantu okuwa omusolo, nga mu kiseera ekyo basooka kundaba nga abatulugunya naye oluvanyuma nga bamaze okulaba ensimbi zaabwe bye zikola baatandika okuguwa kyeyagalire.
Nze gwe mulaba sattiranga riiso ku mukozi wa Gavumenti awuwuttanyizza nsimbi za muwi wa musolo, nga bwe mbiwulira kati mu zi Disitulikiti ez’enjawulo, era abamu kubo bankyawa mu kiseera ekyo, kuba n’abakwatanga ne mbasiba nga kye nsinga okwagala kwe kulaba nga abantu ba wansi baganyulwa mu nsimbi eziwebwayo Gavumenti yaabwe okukola emirimu egibayamba.
Bwe kyatuuka ku bulyi bwe nguzi tewaliwo asobola kwetantala kusaba yadde ekikumi kuba nze n’akanulanga amaaso, ne n’ekaliriza buli kitongole ne nkola yaakyo.
Olw’okuba Mubende alimu amawanga g’abantu ab’enjawulo nagezaako okugatta Abaganda, Abanyolo, Abakiga, Abanyarwanda n’abalala, kubanga bonna nali mbetaaga wakati mu kutwala Mubende mu maaso era tewaliwo kusosola mu mawanga nga kati bwe mbiwulira, era kati okuva mukama wange Pulezidenti bwe yanta mu butongole okuva mu maggye ekiddako ngenda kuddayo muyambeko okutereeza Mubende kuba eriyo ebizibu bingi omuli abatwala amattaka g’abantu mu nkola ey’ekifere, ne nsonga za zaabu aliyo kati akaayanya abangi, Mubende addemu atinte nga bwe yali edda.” Kasirye Ggwanga bwe yanyonyodde.
Ku nsonga y’okutematema mu Mubende, yagambye nti kyali tekyetagisa kujjako Mityana ne Kassanda kubanga kati kafuuse katono nga emisolo egivaamu tegimala, era agamba nti takkiriziganya n’akyakutematema mu zi Disitulikiti kyagamba nti kizikosa nnyo mu by’efuna byazo.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com