Lyantonde
Nansamba Shadia
OMUBAKA wa Palamenti owe ssaza lye Kabula, James Kakooza abadde agenda e Mbarara, atomedde Paasita abadde ava okusumba endiga ze ku kanisa ya Lwebitete Church of God e Nyakahita- Lwebitete mu Disitulikiti ye Kiruhura nafiirawo ate abalala babiri ababadde ku piki ne baddusibwa mu malwaliro ag’enjawulo.
Bino bibaddewo mu ttuntu lya leero Omubaka Kakooza abadde ave e Lyantonde ng’adda e Mbarara mu mmotoka ye No UBB 826F era ng’ebadde ku misindi emiyitirivu, bwatuuse mu kitundu kino, neyekanga piki ebadde evugibwa omusajja ategeerekese nga Gumisiriza ng’ataddeko Paasita Enos Kishokye ng’ono ye afiiriddewo wabula David Byamugisha ye addusiddwa mu Ddwaliro e Lyantonde gyali mu kufuna obujanjabi.
Bernard Burora ono nga y’omu ku badduukirize ategeezeza nti emmotoka y’omubaka ebadde edduka nnyo kyokka yekanze ababadde ku piki nga bamaze okwessogga ekkubo , era abadde agezaako okubataasa emmotoka nebatumira neyefuula emirundi ebiri. Ono ne banne basobodde okutaasa omubaka nebamusika mu mmotoka naye ng’afunye ebisago naddala ku mikono gye natwalibwa e Mbarara gyasoose okufuna obujanjabi obusookerwako.
Abadduukiriza basobodde okubuzaawo Piki Paasita kwabadde atambulira era poliisi y’ebidduka egenze okutuuka mu kifo kino nga tekubikako kimunye.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com