Bya Moses Kizito Buule
ABATUUZE abawangaalira mu nkambi ya bavubi esangibwa ku kyalo Buzindeere mu gombolola ye Mpatta e Mukono bwe bakunyumiza engeri omugagga wa Panamera Events, Desh Kananura gye yatuuka awaagwa akabenje k’elyato, ne nkolagana gye yalaga n’abavubi be yali tamanyiiko yadde tolema kwewunya.
Omuvubi Badi Muhwezi agamba nti baali bakubye amasimu ag’enjawulo ku poliisi ezirinanyewo kyokka nga abagakwata tewali kyebabagamba kyamakulu ekiyinza okuvaamu obuyambi, naye wakati mu kujjayo abantu nga essawa ziweze nga 3:00 ez’ekiro baali bali awo nga balaba emmotoka eyali eyaka ennyo amataala nga etuuka ku biiki ya Mutima.
Muhwezi anyonyola nti yali edduka nnyo nti era baasooka kulowooza nti yandiba eya Poliisi kyokka bagenda okwetegereza nga y’abuyonjo ekika kya Range Rover. Eno yabayitako buyisi n’egenda esibira ku mazzi kwennyini era baali balowooza nti nayo yandiyingira amazzi.
Oluvanyuma mwavaamu omusajja omunene nga muwanvu n’abakyala 3 abaali batema emiranga, nti kyokka omwami olwavaamu n’atandika okukolagana n’abavubi okusobola okusikayo abaali bakyalemedde mu mazzi. “Yatuwa emiguwa mu kaseera ako gye twali twetaaga ennyo, okutuwa ekitangaala ky’amataala g’emmotoka ye agatuyamba ennyo kuba tooki zaali tezikyayaka, era n’atwebaza nga bwatugumya twongeremu amaanyi mu kuyamba abaali bakyali abalamu.”
“Yaleeta engoye saako ne bulangiti ezaali z’etagibwa mu kaseera ako okusobola okubikka abantu abaali batobye ennyo, era nga bakankana basobole okufuna ebbugumu, kubanga ffe twali twagala okubafunira eby’okubabikka nga bwe tulinda abantu baabwe naye twali tetulina mu kiseera ekyo, era yagenda mu maaso n’akuba amasimu awo we twalabira nga Poliisi n’amaggye batandika okweyiwa mu kifo kya mutima.”
The Watchdog Uganda yalondodde ensonga eno era ne tuzuula nga ono omusajja yali Desh Kananura owa Panamera Events. Twamunonyezza era ne tumusanga mu Offiisi ye esangibwa e Naggulu mu Kampala naatunyonyola:
Zaali ssaawa nga 2:14 ez’ekiro nali ndi wange nga neebase ngenda okuwulira nga mukyala wange ampita nga bwalekaana nantegeeza nti afunye essimu okuva ewa mukwano gwe Isaac Kayondo nga amutegeeza nti baali bafunye akabenje ku mazzi gye baali balaze okukuza akabaga ka mukwano gwe aka mazalibwa. Wabula sasooka kutegeera bulungi kyaliko kubanga eby’akabaga ku mazzi nali sibimanyi.
Oluvanyuma najjukira nti ne mukyala wange yali ansabye okubaayo ku kabaga ako, era nga nange yali yakantegezaako emabegako, wabula n’alemwa okukeetabako olw’emirimu egy’enjawulo gye yali alina akawungeezi ako.
Naddamu okukuba ku ssimu ya Isaac nga teyitamu kwe kuyimukiramu ndabe eky’okukola, kye nasooka okulowozaako kwe kunoonya essimu yange esobola okunoonya endagiriro y’ekifo kyenyini, (Google Map) kubanga nali simanyiiyo, ekyaddirira nanoonya emiguwa, Enkampa, Tooki, engoye ezizitowa ne zi bulangiti, kwegamba buli kye nalowooza mu kiseera ekyo nti kiyinza okuyamba n’akikwata ne nzijayo emmotoka.
Naye mba nfuluma mu maka gange ne nsanga banyina ba Isaac nga nabo baali batuuse ffenna ne tutandika olugendo nga tugoberera essimu kye yali etulaga. Nava awaka nga ntaddeko indikeeta 2 era nga nvugira ku mabbali ga kkubo okutuuka e Mukono mu kibuga, olwo nentereramu bwe natuuka ku lwe Katosi ate nga nali sirukwatangako, nayingira ekkkubo lye kyalo nga sipiidi yamaanyi naye nga ebinnya bingi nnyo eky’ankereyesaamu kko, yogayoga nga ntuuse ku Mutima Biici.
Wano nasanga abavubi bambi bagezezzaako okuyamba abamu nga balamu ate bwe natunula eludda nalaba emirambo nga gigangalamye ku mabbali g’ennyanja kye nasooka okukola kwe kunoonya Isaac, bwe nalaba talabika kwe kukebera emirambo nga nyambibwako abavubi n’ogwa Isac ne ngulaba amaanyi ne ganzigwamu.
Mikwano gya mukyala wange 3 nabo twakizuula nti baali bamaze okufa olwo n’entandika kwenyigira mu kutaasa abaali bakyali abalamu kubanga nali mmaze okukizuula nti be nali ngenze okutaasa baali bamaze okufa.
Mu kiseera ekyo tewaali wa Poliisi yadde owaMaggye okusobola okuyamba abaali bakyali abalamu era n’enkolagana n’abavubi n’enkozesa emmotoka yange okubamulisiza, nga bwe nkubira amasimu ag’okumukumu buli gwe ndowooza nti ayinza okuyambako .
Natuuka n’okukubira essimu mukwano gwange munnaNsi wa Israel atera okumpangisa ku nnyonyi wabula nantegeeza nti mu Uganda temwalimu nnyonyi eriko kitaala mu kiseera ekyo, nakyo ekyammalamu maanyi.
Nkubira omulanga baganda baffe abali mu bitongole bye by’okwerinda bulijjo okuvaayo amangu nga bawulidde ebizibu ebigudde ku bantu, kubanga nze nayita ku lukalu n’entuuka nga tewali yadde n’oomu yatuuse, singa bajja mu bwangu twandibaddeko abalala be tutaasa.
Neebaza abatuuze abalinaanye Biiki ya Mutima e Mpatta abaakola omulimu ogw’ettendo okusobola okutaasa abantu be baali tebamanyi, ate n’okukolagana nange obulungi ne tuyambako kye twayamba.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com