Bya Nansamba Shadia
ABASUUBUZI abakolera mu katale ka Nyendo mu Divizoni ya Nyendo Ssenyange e Masaka balaajana lwa kizikiza oluvanyuma lw’ekitongole kya masanyalaze okubasalako lwa bbanja lya bukadde obusoba mu busatu.
Betty Nalweyiso omutunzi wa Lumonde mu katale kano agamba nti ababakulira balemwa okwawula ssente mmeka omuntu zalina okusasula buli mwezi ekyandibayambye okuziwa amangu nga tebanasalibwako.
Mu kiseera kino emirimo gisanyalidde era nga nabasinga banyuka obudde bukyali olwekizikiza ekikwata mu katale kano.
Fulugensio Yiga, owamawulire mu katale ka Nyendo yategeezeza nti ebbanja lyavudde ku bantu ababadde beyambisa ebyuuma okukuba ebinyebwa kyokka nga tebagala kusasula wabula ate olwamaze okubasalako amasanyalaze bizinensi nebazisengula nga baleseewo ebbanja lino.
Yiga agamba bakyayiiya ngeri gyebayinza okusasula ebbanja lino olwo babakane nogwokwogeragganya ne UMEME okulaba ng’ebazza ku nkola ya Yaka gyagamba nti yandiyanguya mu nsasula ye nsimbi.
Bizinensi nnyingi zigaddewo nga ne midaala egisinga mu katale mikalu kyokka nga gavumenti yakateekamu ensimbi nnyingi okukakulakkulanya nga yazijja mu Arab Bank for economic Development in Africa (BADEA). Abamu ku baabuse mu katale, mulimu abatunda eby’okunywa nga Sooda, amazzi n’obutunda era nga wano emidaala egisoba mu 20 gyagaddwa kuno kwoteeka abatunda engoye enkadde nga bagamba omwaaliro gwe bateekebwako abaguzi tebatuukayo ate nga nabatwala eggombolola eno balemereddwa okugoba abatundira ku nguudo.
Ssentebe wa katale kano John Ssendagwe agamba abantu tebafuna kusomesebwa kumala nga bakwasibwa akatale kano nga baali balowooza buli kintu gavumenti yegenda okukibasasulira.
Akatale kano kaggulwawo nga 2/Dec/2016 era ng’omukulembeze we ggwanga yakakwasa abasuubuzi nga kawedde okudaabirizibwa kampuni eya Ambitious Construction Company.
ENDS.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com