Bya Moses Kizito Buule
ABAGANDA balugera nti akanaafa tekawulira ngombe, naye kuluno olugero luno lw’atukiridde ku kyalo Buzindeere ekisangibwa mu gombolola ye Mpatta mu Disitulikiti ye Mukono.
Kigambibwa nti ku ssawa 4 ez’okumakya abadigize abasoba mu 180 baabadde bamaze okutuuka ku biiki ya KK e Ggaba mu Divisoni ye Makindye okusobola okugenda okulinnya eryato okutambulira abadigize ensangi zino mu nkola eyakazibwako erya BOAT CRUISE. Mu nkola eno abadigize bagula buli kya kulya saako ne by’okunywa olwo ne boolekera amazzi wakati era olumu bamanyi n’okutuuka wakati mu mazzi eryato ne liyimiriramu kko anti endongo n’ekwaata akati.
Ne kuluno bwe kyabadde, omu ku bagagga b’omuKampala abangi gwebayita Templar Bisase yabadde ategekedde basubuzi banne akabaga ak’okwekulisa omwaka. Templar abade nebizibu bingi omwaka guno, nga n’elyato lye limaze emwezi nga ffu.
Omu ku badigize era nga yoomu ku bakawonawo Rogers Senkumba yagambye nti bwe baatuuse e Ggaba ku biiki bamazeewo ebbanga lya ssawa nga 9 be ddu, nga balinda eryato lino okujja libongereyo.
Agamba nti abamu ku bo batuuse ne kiseera ne baagala okwekuba baddeyo ewaka waabwe kyokka oluvanyuma abakozi b’omugagga babapererezza ne babagumya nga ekiseera bwe kyabadde kisembedde batere bagende.
“Wayise akabanga katono ku ssawa nga 11 ne kitundu twabadde tuli awo eryato mulindwa ne ligoba nga ne ndongo kweri esindogoma ffenna ekyatuzizzaamu amaanyi nga tutegedde nti olugendo lwaffe lwabadde lutuuse. Twalinnye ffenna era ne twolekera mu mazzi nga eby’okunywa n’okulya byonna bigenda mu maaso n’abeekubya ebifananyi nga beekuba, kyokka tetwategedde nti abamu kuffe twabadde tusemberedde entaana zaffe nga tetumanyi, twagenze okulaba nga abamu ku banaffe batugamba nti mukimanyi nti amazzi gatandise okuyingira mu lyato? Wabula ebyo byonna abadigize baabadde tebabiwulira olw’omuziki ogw’abadde gusindogoma okuzaama.
“Oluvanyuma nga eryato liyimiridde mu mazzi wakati nga enkola bwetera okuba, omu ku balabirira eryato lino twawulidde nga agamba Tempra nti amazzi gatandise okweyongera twalikyamye ku mwalo gwe Buzindeere ne tuyimirira awo abantu ne basooka bavaako ne tulaba wa wegayingirira.
“Kino Tempra teyakiwulirizza era n’amutegeeza nti ani yakugambye nti tugenda awo? Era namugamba nti baabadde balina okumala okutuuka ku biiki, ekyandeetedde okwekangamu kubanga nabadde mbawulira bulung,i” Senkumba bwe yanyonyodde.
Yagasseeko nti bakitegedde luvanyuma nti eryato okulwawo lyabadde teliri mu mbeera nnungi era nga ba makanika baabadde bakola ekisoboka balimalirize mangu, nga kilabika waliwo bye batakoze ebyavuddeko obuzibu.
Twagenze okulaba nga oludda olumu lwesulisse abantu kwe kuddukayo ne badda ku ludda olulala, ekyaleesewo okwesulika n’ekyaddiridde lye lyato okwefuula nelituyiwayo ffenna.”
Abatuuze ku mwalo gwe Buzindere obuzibu bwoona bagamba bwavudde ku nanyini lyato lino Tempra olw’okuba nti tatera kuwuliriza bantu kye bagamba nti era alina empaka nnyingi nga kirabika teyawulirizza bavuzi ba lyato magezi g’ebabadde bamuwa.
Atwala eby’okwerinda mu gombolola ye mpatta GISO Hamid Lubowa yategezezza The Watchdog Uganda nti abantu bangi tebandifudde naye omuwendo eryato lino gwe lilina okutwala guli 60 bokka,nti kyokka kigambibwa nti abantu ababaddeko baabade basoba mu 180 ekirowozebwa nti obuzito nabwo bwayitiridde.
Yategezezza nti ne mbeera y’okuba nti abantu baabadde tebamanyi nkola ntuufu gye bakola mu kuwa obujjanjabi obusokerwako ku bantu ababa bagudde mu nnyanja, abatuuze obwedda buli gwe bajjayo nga basooka kumunyiga lubuto, bwe babuziddwa lwaki bakola ekyo bagambye nti babilaba mu zi cinema, nga yeemu ku nsonga lwaki nababadde bakyalimu akalamu baafudde.
Omu ku boogezi ba Poliisi mu ggwanga Zuulah Gannyana yagambye nti Poliisi yakanyululayo emirambo 30 era nga bagitutte mu Ggwanika lye ddwaliro e Mulago gy’ekebejjebwe.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com