Bya Moses Kizito Buule
OMUSOMESA we Makerere Dr. Stella Nyanzi leero lwakitegedde nti agenda kuddamu okumala mu nkomyo e Luzira sabbiiti endala 3, oluvanyuma lw’omulamuzi w’eddaala erisooka mu kooti ya Buganda Margret Kamasanyu okulagira akomezebwewo nga 10 omwezi ogujja, alyoke ayongere okuwerennemba n’emisango egimuvunanibwa omuli ogw’okulengezza omukulembeze w’eggwanga, wamu n’okumumalako emirembe bwe yamuvuma saako ne Nnyina omugenzi Esteri Kokundeka, nga asinziira ku mikutu emigatta bantu.
Oludda oluwaabi olukulembeddwamu Janat Kitimbo ategezezza kkooti nti bamaze okukola okunoonyereza kwonna era nti n’obujulizi obuluma Nyanzi nabwo bamaze okubufuna, nagamba nti kisigalidde mulamuzi kuteekawo lunaku atandike okwewozaako, ne Puliida we Isaac Ssemakadde kyakkirizza.
Wabula obutefananyirizaako mirundi giwedde nga bwabadde akubawo agagambo agazito mu kkooti olw’aleero Nyanzi abadde mukakkamu nnyo ekyewunyisizza ababadde mu kkooti.
Omulundi ogwaggwa Nyanzi bwe yaretebwa mu kooto yasaba omulamuzi aleme kumuyimbula, nga agamba nti yali ayagala Pulezidenti Museveni ajje mu kaguli amulumirize nga bwe yamuvuma ne Nyina.
Kigambibwa nti Stella Nyanzi mu mwezi gw’omwenda nga 19 omwaka guno yadda ku mikutu emigatta bantu navuma omukulembeze we ggwanga ne Nnyina kati omugenzi Esteri Kokundeka nga akozesa agagambo aganene, eky’amalako omukulembeze emirembe saako n’okumutyoboola.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com