ABAVUBI ku myalo egy’enjawulo mu magombolola omuli eye Ntenjeru,Buikwe ne Ssi mu disitulikiti ye Buikwe, bawanjagidde abatwala eby’okwerinda babayambe ku mbeera y’obubbi obukudde ejjembe mu bitundu bye nnyanja gye bakolera.
Abavubi bagamba nti obubbi obubaluseewo ku nnyanja bubelalikirizza nnyo ekiyinza okuviirako ebyenfuna byaabwe okukka naddala mu biseera bino eby’ennaku enkulu, songa bandibadde bafuna ku nsimbi ezeegasa mu byennyanja bekulakulanye.
Ssentebe w’abavubi ku mwalo gwe Bbanga Steven Mwanje yategezezza nti , ababbi babateega wakati mu nnyaja gy’ebuvuddeko nga bava okuvuba ne bababbako eby’enyanja byonna, nga kw’otadde ne nsimbi z’ebaali batundidde mu mazzi wakati.
Yawanjagidde abatwala eby’okwerinda ne Poliisi ye Mukono saako ne Buikwe, okubayamba babaterewo obukuumi bw’okumazzi, basobole okutambuza emirimu gy’abwe nga tebalina kutya kwonna, ku lw’abavubi banne n’eyeyama okukunga abavubi okukolagana n’abeby’okwerinda okusobola okwanganga ababbi ababafukidde ekyambika.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com