Bya Nansamba Shadia
BANNAKIBIINA kya NRM mu Masaka ey’awamu basabye Pulezidenti Yoweri Museveni addemu yesimbewo mu 2021 nga balaga nga bwebali abeteefuteefu okumuyiggira obululu okusobola okuddamu okuwangula.
Bano basinzidde mu lukung’aana lwe bakubye ku kisaawe kya Liberation mu kibuga Masaka ku lw’okuna w’ebayisirizza ekiteeso ekisaba Museveni okukkiriza erinnya ne kifaananyi kye okulabikira ku kalulu ka 2021 nti kuba gwe bagambye nti akyalina obuganzi mu bantu.
Aba kabondo ka Mwoyo gwa gwanga nga bakulembeddwa SSentebe wabwe Mulindwa Birimumaaso bategeezeza nti oluvanyuma lw’okunoonyereza ku bintu NRM by’etuseeko mu myaka 30 omuli okuzimba enguudo, amasomero,amalwaliro bakizudde nga Museveni akyalina bingi eby’okukolera eggwanga era kwe kusalawo okumusaba okudda avuganye.

Mu birala bye bayisizza kwe kugyawo akawaayiro 44 akatundu 3 mu Ssemateeka we kibiina akabadde kabalagira okusunsula abakulembeze be kibiina nga bayita mu kalulu ka bokisi nga kino bagala kidde ku kusimba mugongo ng’abalonzi bakutte ekifaananyi ky’oyo gw’ebawagira.
Ssentebe we NRM owa Eastern Capt Mike Mukula yasinzidde wano n’eyekokkola enkwe, fitina n’obutagaliza obujjudde ekibiina kyabwe byagambye nti byandibaviirako okubakuba ekigwo.

Mukula yategeezeza nti kyewunyisa abantu okuloga bannabwe ate nga bakibiina kimu nabasaba obunanfuusi buno babukomye wabula bakolere okugenda mu maaso ne nkulakulana.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com