Bya Nansamba Shadia
OMUBAKA wa Pulezidenti e Masaka Herman Ssentongo aweze ebimansulo okuddamu okulagibwa mu mabaala agali mu kitundu kino kyagambye nti kibadde ky’ongedde okwonoona abaana.
Ssentongo asinzidde mu lukiiko lw’eby’okwerinda nategeeza nti tebayinza kukkiriza mabaala kugenda mu maaso nga gakozesa abaana abato okuzina ebimansulo abandibadde bali mu masomero nga bakolera ebiseera byabwe eby’omumaaso.
Ono ategeezeza nti ebbaala okulaga ekimansulo eteekwa okuba n’olukusa era ng’erina n’ekkomo ku myaka gy’abantu abakyetabamu kyokka ekintu ekibadde kitagobererwa mu Masaka, ng’oli oluggulawo atandika nakukung’anya baana kuva mu byalo ebyetoloodde ekibuga n’abakozesa mu bikolwa ebibawebuula.
Ssentongo agambye nti tayinza kukkiriza mpisa kuweebuuka mu bantu ate nga akimanyi bulungi nti ne bannanyini mabbaala babadde beyambisa obunafu bwe by’okwerinda ne bakozesa abaana ebintu ebitaliimu nsa.
Alagidde poliisi okukwata bannanyini bbaala abanasangibwa nga tebagoberedde kiragira kino era bavunaanibwe okwesisittaza abantu.
Ku nsonga endala eyanokoddwayo ye by’okwerinda by’abagoba ba boda boda nga mu bbanga ery’emyezi ebiri waliwo piki piki ssatu ezibiddwa ng’ababbi beyambisa obukodyo obw’okugulira abazivuga biscuit atekeddwamu kalifoomu
Ssentongo yabalabudde okubeera obulindaala nokwewala okulya ekintu kyonna ekibeera kibawereddwa abasaabaza.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com