Bya Nsubuga Keneth
EKITONGOLE kya KCCA kitongozza kawefube w’okugoba abatembeeyi ku nguudo z’omukibuga nga emu ku ntekateeka ezigendereddwamu okugogola ekibuga.
Kawefube ono yalangirirwa Minisita wa Kampala Betty Kamya wiiki ewedde era naawa abatembeeyi ennaku mbale nga baamuse enguudo zonna ez’etoloodde amasekkati g’ekibuga, nga agamba nti ekibuga kyali kitabuddwa abatembeeyi oluvanyuma lw’okuwulira nti abadde Nankulu Jenifer Musisi yawandikira Pulezidenti nga bw’agenda okulekulira emirimu gye ku nkomerero y’omwaka guno.
Bwabadde ayogera ku mukutu gw’amawulire ogumu mu Kampala, ayogerera ekibuga Peter Kawuju akakasizza nga bwe baatandise edda okuteeka mu nkola ekiragiro kya Minisita Kamya, nagamba nti kuluno baagala okuleka ekibuga nga kilongoose.
Anyonyodde nti ekitongole kyayisa ebiragiro wiiki ewedde nga kilagira abatembeeyi bonna okwamuka enguudo, aba zi ttakisi nabo abasimba mu bifo ebitalagirwa nabo bategezebwa saako ne Boda Boda abatagondera mateeka g’abyantambula.
“Kye twagala okulaba kwe kuba nti ekibuga kiba kinyirivu nga kwotadde n’okutegekebwa obulungi buli muntu akyeyagaliremu” Kawuju bwagambye.
Ye Loodi Meeya wa Kampala Erias Lukwago anenyezza abakulembera ekibuga Kampala nga kwotadde ne Minisita Betty Kamya olw’obutafaayo kusooka kutekeratekera batembeeyi bano wa gye bagenda okulaga wabula ne basalawo okubasindikiriza olw’empaka.
Lukwago agambye nti okugobaganya abatembeeyi tekigenda kumalawo bizibu bya kampala omuli ne ky’okukendeeza ku bifo abantu we bakolera n’ebizimbe okuba eby’ebeeyi ennyo.
“Twali tusazeewo tuteketeeke ebifo nga Ssebaana Kizito Road, Allen Road okusobola okutebenkeza abasubuzi, naye munaffe Betty Kamya yagaana okutuwuliriza” Lukwago bwagambye.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com