Bya Moses Kizito Buule
BANAMAWULIRE mu ttunduttundu lya Masaka bali mu kasattiro oluvanyuma lw’okusanga ekibaluwa ekiriko olukalala lw’amannya gaabwe nga babewerera okubasanjaga n’ebiso, okubakuba amasasi oba okubawa obutwa ssinga tebava mu kunonyereza ku nsonga ezitali zimu mu kitundu kino.
Ekibaluwa kino ekitalina wantu wonna we kilaze gye kivudde kisangiddwa okumpi ne Offiisi ya bannamawulire eya CBS esangibwa mu kibuga Masaka ku mande nga kino kilaze nga bannamawulire abawerera ddala 9 bwe balina okuttibwa singa tebakomya kunonyereza kwe bakola mu bitundu bye Masaka.
Mu bano mulimu Farish Magembe asakira amawulire ekitongole kya NBS nga ono bagambye nti yeewaana nnyo nga akola emirimu gye, Tomusange Kayinja owa CBS ono bagambye nti bamulanga mawulire g’akola, Jamir Kalanzi CBS,bategezezza nti abanonyerezaako nnyo, Nsubuga Robert, owa BBS TV nti ono abaanika ekisukkiridde, Male John CBS, ono bamulabudde yesonyiwe ensonga ezikwata ku ettaka, Jacinta Bwanika owa BUKEDDE TV, bagambye nti ono asusse weyandikomye,Ssozi Ssekimpi Lwazi CBS, Mukasa Kipecu Kamunye, Mutyaba Gertrude owa Monitor, Yisa Aliga owa NTV ne Norman Kabugu owa Kamunye.
The Watch Dog Uganda eyogeddeko ne Jamir Kalanzi n’ategeeza nti mu kiseera kino bali mu kutya olw’ekibaluwa kino, nti kyokka ssi kipya kubanga bulijjo babadde bafuna okutisibwatiisibwa abantu ab’enjawulo naddala bwe baba nga baliko amawulire amekusifu ge babeera banoonyerezaako mu kitundu kye Masaka.
Agambye nti tebagenda kuva ku mulamwa gw’akunonyereza ku bigenda mu maaso mu kitundu kino, nagamba nti bino ababikola baagala kubamalamu maanyi nga bannamawulire basuule omulimu gwabwe.
Anyonyodde nti ensonga bamaze okuzitegezaako ab’obuyinza mu kitundu kino.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com