Bya Moses Kizito Buule
ABAKULEMBEZE ba Disitulikiti ye Mukono bali mu kattu oluvanyuma lw’abaKkansala okubateeka ku nninga babanyonyole lwaki ebifo 3 eby’abakozi eby’amaanyi tebijjuzibwa kati emyaka egisoba mu 10.
Ebifo ebiliko enkalu mulimu eky’atwala eby’ensimbi, Omukulu w’ebyenjigiriza, saako n’akulira okusasaanya amawulire ag’akwata ku Disitulikiti.
Ba Kkansala nga bakulemberwa omukiise omukyala ow’eGombolola ye Nama Sylivia Kyobe bagamba nti ebifo bino okuba nga bimaze ekiseera kino kyonna nga tebilina bakozi bankalakkalira kikosezza nnyo Disitulikiti eno, kyagamba nti olumu balabika nga balemererwa okukola emirimu nga bwe jandikoleddwa olw’okuba bakolera mu kutya okubagoba olw’obutakakasibwa.
Yanyonyodde nti okugeza Ekifo ky’omukulu we by’ensimbi (District Finance Officer) ekilimu Mukyala Justine Kalembe akimazeemu emyaka kati egisoba mu 4, kyokka nga naye okukifuna ky’alimu Albert Abongi nga ono naye yakimalamu emyaka 7 nga kigambibwa nti teyalina bisanyizo ku kibeeramu era akakiiko akagaba emirimu ne kamussa ebbali.
Ekifo eky’omukulu w’ebyenjigiriza kilimu omwami Vicent Baraza nga ono yali mulambuzi wa massomero mu Disitulikiti n’asumusibwa nassibwa mu kifo ekyo kyokka nga nga DEO mwamaze emyaka kati 11 nga ayambako okutambuza Offiisi eno, ekifo kino kyalimu Godfrey Sserwanja eyagomba nga kigambibwa nti yalina ebiwandiiko ebiyitiridde obungi nga kigambibwa nti oluvanyuma lw’okusalasala Mukono eyawamu ekitundu kyasigala kitono nga tekyetagisa Senior Principal Education Officer.
Ono oluvanyuma yatwala Disitulikiti mu mbuga omusango n’agusinga era ne bamusasula obukadde obwasoba mu 100 olw’okumugobera obw’emage.
Ekifo ekulu ennyo ekilala kye ky’atwala eby’amawulire mu (Disitulikiti District Information Officer) kino kimaze kati emyaka 15 nga tekiriimu muntu yenna kyokka nga buli mwaka bakiyisiza ensimbi ezikiddukanya ba Kkansala kye bagamba nti tebamanyi kye zikola kubanga teri azikozesa.
Kkansala akikirira ebizinga byer Koome Asuman Muwumuza yagambye nti olw’obutabaawo bwa bakungu ab’enkalakkalira abaddukanya emirimu mu bifo eby’amaanyi bwe biti, kino kizingamizza entabuza ye mirimu mu Disitulikiti saako n’okubulankanyizibwa kwe ensimbi okuyitiridde.
“Silaba lwaki ebifo bino tebijjuzibwa kubanga Ssentebe yaleeta olukiiko olugaba emirimu mu kkanso era n’etuluyisa nga kati lukola, twagala atunyonyole lwaki abakulu bano bamaze emyaka egyo gyonna nga bakola nga abayambi.” Muwumuza bwe yagambye.
Yayongeddeko nti mu kkanso eddako bagenda kutekawo amaanyi balabe nga Ssentebe Andrew Ssenyonga banyonyola ku nsonga eno kubanga bamaze ebbanga nga bamubuuza nga ajebalama.
Kawefube wa The Watch Dog okw’ogerako ne Ssentebe Andrew Ssenyonga ku nsonga zino agudde butaka olw’essimu ye emanyiddwa okuvuga emirundi egierako nga takwata.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com