Bya Moses Kizito Buule
OMUWALA Suzan Namata eyasinziira ku mikutu emigatta bantu n’awemula Pulezidenti Museveni leero lw’akitegedde nti agenda kumala ennaku endala 19 mu nkomyo e Luzira, oluvanyuama lw’oMulamuzi okumutegeeza nga bw’atagenda kubaawo mu ggwanga okumala ssabiiti 2.
Omulamuzi wa kkooti ento etuula ku luguudo Buganda Stella Amabirisi y’akatemye Namata abadde omuyongobevu mu kaguli ka kkooti nti addizibweyo e Luzira gye yasindikiddwa eggulo, okutuusa nga akomyewo ebweru we ggwanga gyagenda ku mirimu egy’enjawulo, nga n’omuwaabi wa Gavumenti Miriam Njuki nga bwe yetegeka okuwulira okusaba kw’okweyimirira Puliida we Isaac Ssemakadde kw’abadde ataddeyo olwaleero.
Amulagidde okudda mu kkooti eno nga 20 omwezi guno ensonga ze zonna ziwulirwe.
Mu kusooka Ssemakadde abadde asabye omulamuzi omuntu we yeyimirirwe ku kakalu ka kooti kyokka omulamuzi n’agaana olw’okuba abadde teyatambudde n’abiwandiiko bye ebimulambika okuba puliida omujjuvu.
Kino Ssemakadde tekimukoze bulungi era n’awera okutwala ensonga ze ewa Ssabawaabi we misango gya Gavumenti.
Namata avunanibwa emisango omuli ogw’okukozesa obubi ekyuma kikali magezi, saako n’ogw’okutyoboola omukulembeze we ggwanga.
Namata omutuuze we Najeera mu Kira Division, kigambibwa nti mu mwezi gw’omwenda yekwata akatambi nga ayogera ebigambo ebyali ebikaawu eri Pulezidenti Museveni era n’eyewera nti singa talagira abeby’okwerinda bate omubaka wa Kyadondo East Robert Kyagulanyi yali agenda kw’eyambula asigale bute agende mu maaso ge.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com