Bya Moses Kizito Buule
KAKENSA mu nsonga z’abaana Rev. Dr. Keefa Sempangi alaze obwennyamivu olw’emisinde abaana b’eggwanga gye bakoozimbamu, era ensonga eno n’agissa ku bazadde abagayaaliridde engeri ezaakozesebwanga okuyimusa obwongo bw’abaana abato.
Agambye nti mu mawanga g’olukalu lw’Afrika, abaana ebitundu 38 ku buli kikumi mu Uganda bakozimba, nga Burundi ly’eggwanga eriri mu kifo ekisooka.
Sempangi yabadde aggulawo olukungaana lwa bannakibiina abegattira mu mukago ogumanyiddwa nga Business Friends Africa, nga gugatta abasuubuzi, abakugu, n’abeebuuzibwaako ensonga, nga balina ekigendererwa eky’okutema empenda ez’okugatta Bannayuganda mu biti byonna okubaako bye bakola olw’okutumbula eggwanga.
Ejkibiina kyaabwe kirina ekigendererwa eky’okuyita mu kuwa abaana b’eggwanga okuyigirizibwa okw’omutindo, okulwaanyisa ekibba ttaka, okulaba nti obutonde tebutyoobolwa, wamu n’okwogera ne gavumenti okutuukiriza bino.
Kituula buli mweezi e Makerere mu yunivasite okulaba we batuuse mu mulimu gwaabwe, era omulimu gukulembeddwaamu akulira omukago gwaabwe Dr. Dan David Mayanja.
Sempangi yakiikidde aba minsane ensingo olw’okuvumirira ebintu ng’endege ezaasibwanga ku magulu n’emikono gy’abaana okubasikiriza okutambula bo ne babiyita ebya sitaani, sso nga abazungu nabo babissa mu bibaya by’abaana baabwe olw’ekigendererwa ky’ekimu.
Yagambye nti eddoboozi eriva mu ndege ezo liyimusa obwongo bw’omwaana era nga tewali nsonga ndala yonna ezisibya ku baana, bw’atyo n’avumirira abazungu olw’okuvumirira ate bye bawagira mu beeru bannaabwe.
Sempangi era yagambye nti okusikiza eby’obuwangwa bwa wano n’eby’abazungu kikotogedde emizannyo, engero n’ennyimba ebyaakozesebwanga wano, bw’atyo obuwangwa bwaffe ne bufuukira ddala ekyenyiyalwa, n’awa amagezi nti tusaanye okuttukiza ebyaffe ebyoolekedde okusaanawo.
Mu kwogera ku buzibu obwoolekedde eddimu ly’okukuza abaana, Dr. Mayanja yagambye nti ensangi zino waliwo ebizibu omuli okutyoobola eddembe ly’abaana, obuseegu, n’obutasobozesa baana baffe kutuukana na mulembe, n’akubiriza buli muntu okwetikka obuvunaanyizibwa okukyuusa embeera eno.
Mu boogezi abalala mwaabaddemu Dr. Grace Nambatya Kyeyune akulira ekitongole ekinoonyereza ku ddagala ly’ekinnansi mu ministule y’eby’obulamu, eyaggumizza obukulu bkozesa eddagala eryaffe erya wano mu kujjanjaba endwadde nkumu.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com