Bya Moses Kizito Buule.
SSABASAJJA Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II alaze obwenyamivu olw’ebikolwa ebikyamu ebiriwo era ebigenda mu maaso mu ggwanga ng’ekimu ku bbyo, kwe kutulugunyizibwa kw’abantu ssekinoomu ng’anabasinga olumu kizuulibwa nga baba tebalina misango. tebaba
Okwogera bino,Ssabasajja Kabaka abadde ku kitebe kye Ggombolola Nanfumbambi Ntenjeru awategekeddwa omukolo omukulu ogwa bulungi bwansi.
Saabasajja kabaka yagambye nti mweraliikirivu olw’amawulire agazze gatambula okuva ku ntandikwa y’omwaka guno olw’abantu banaalumanya ne ba saalumanya abatirimbulwa obw’emage n’asaba abantu naddala abavubuka okwewala okwenyigira mu bikolwa eby’ekitujju nga bino.
“Tukolere wamu ng’oBuganda okw’ewala emize egy’engeri nga zino omuli okutta abantu,amaanyi g’emwandikozesezza mu ebyo mugakozese okukola emirimu emirala eginaabayamba okw’ekulakulanya”Ssabasajja kabaka bwe yagambye.
Mu kwongerako omutanda yalaze obw’etaavu obuli mu kukulaakulanya ebitone by’abaana era n’asaba abazadde okukomya okubasalirawo olw’ensonga nti kino ebiseera ebisinga kibajja ku mulamwa oluusi ne bakola n’ebitasaanidde olwa puleesa enyingi eba ebeteekedwako okuva mu bazadde babwe.
“Abazadde muyitirizza okutuulilira ebitone by’abaana bamwe ekitali kituufu. Mulimu gwaffe nga abazadde okukulakulanya ebitone by’abaana baffe ate mubayambe okuzuula obulungi bye basobola n’ebyo bye batasobola olw’o Buganda busobole okukuza abavubuka ab’omugaso era abasobola okwekolelera nga bayita mu bitone byabwe” Omutanda bwe yagambye.
Kabaka nate asabye abantu okuba abanyiikivu mu buli bye bakola wabula n’akukkulimira abantu abesibye ku ngombo ya gumenti okubayamba buli kiseera ne beerabira nti basobola okwekolelera okwetusaako ebirungi byonna bye baagala.
“Njagala okutegeeza abavubuka nti ebirungi biva mu ntuuyo. Emirimu mingi gy’oyinza okukola nga tolinze gavumenti kukuduukirira okwekulakulanya ng’ogyeeko egya ofiisi abasinga ku mwe gye mwesunga. Musobola okugogola emyala n’okusima enzizi ku byalo byamwe ne mutalera ngalo ekiyinza okubaviiramu okulowooza ebikyamu”Ssaabasajja Kabaka bwe yagambye.
Ono era akubirizza abavubuka okweyuna okwewola ssente mu bibiina eby’obwegassi basobole okugaziya bizinensi zaabwe ate era bafube okulaba nga bawa ne bavubuka banaabwe emirimu nabo basobole okwekulakulanya nga kwogasse n’okwetuusaako bye baba beetaaze.
Ssabasajja kabaka yasiimye eky’abavubuka okwenyigira mu bukulembeze naddala obw’ebika eby’enjawulo era n’abasaba okukozesa ennono n’obuwangwa okukulakulanya obuganda mu ngeri zonna.
“Mbakubiriza okutandikawo ebibiina by’obwegassi mu bika byamwe olw’ensonga nti kino kigenda kubayamba okwegatta n’okukolera awamu ng’abaganda. Njagala abaganda tubeere eky’okulabirako eri obwakabaka obulala tubeere n’eggwanga elyetongodde era eriggumivu.”Omutanda bwe yategeezezza.
Yeebazizza abakungu bonna okuva mu Buganda okwabadde katikkiro Charles Peter Mayiga,Ssekiboobo Alex Benjamin Kigongo,Johnson Muyanja Ssenyonga ssentebe w’akabondo k’ ababaka abava mu Buganda n’abalala bonna abeenyigidde mu nteekateeka zonna eza bulungi bwansi.
Ye katikkiro Charles Peter Mayiga asabye abaami ba kabaka okuva mu masaza gonna ageetoolodde Obuganda okuli Kyaggwe,Ssingo,Bugerere,Buddu,Kyaddondo n’amala,okutuuzanga enkiiko okuteesa ku binaakulakulanya amagombolola gaabwe saako n’okufuba okulaba nga balambula ebifo abantu baabwe gye babeera.
Mayiga era abakuutidde okugondera omulanga gwa Ssaabasajja kabaka ogw’okukolanga bulungi bwansi buli lwa mukaaga naddala eri abakozi era n’abasaba okukeeranga ku nkya okulongoosa ebyalo gye babeera oluvanyuma bagende bakole emirimu gyabwe.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com