Bya Moses Kizito Buule
KATIKKIRO w’obwaKabaka bwa Buganda Charles Peter Mayiga akunze abantu bonna mu Buganda okwewala embeera evaako obujama, kyeyayogeddeko nga ekisinze okusiba eddwadde mu bantu.
Mayiga agamba nti ennaku zino abantu tebakyefaako nga batuuka n’okulwala era ne bonoona ensimbi mpitirivu mu kwejjanjaba, kyokka nga tebasobola kuyonja Maka mwe bava, ebifo we bakolera n’emibiri gyabwe.
Okw’ogera bino yabadde atongoza mayilo y’abulungi bwansi ku kyalo Kikooza mu Munisipaari ye Mukono ku mande, nga ogumu ku mikolo egikulembera amefuga ga Buganda agaberaawo nga 8 ogw’ekkumi buli mwaka.
Yategezezza nti abatuuze bennyini mu bitundu byabwe be balina okuvaayo okulwanyisa embeera y’obujama, gye yayogeddeko nti olumu emalamu n’abantu ekitiibwa, omuntu n’afuuka ekitagasa era nga tewali amusemberera, yadde okumulabawo nga enjogera ye nnaku zino bweri.
“Kale tubasaba nga tujaguza amefuga g’omwaka guno, mwenna mulina okuba abayonjo, mulongoose yonna gye musula, mugogole emyala temumala kulinda bakulembeze, musaawe ensiko zonna ez’etolodde amaka gammwe, mweyonje namwe mwenyini emibiri gyammwe, abavubuka mubeere eky’okulabirako mu bitundu gye muva ne gyemukolera nga mwewala obujama obuyinza okubaletera endwadde.” Mayiga bwe yategezezza.
Meeya wa Mukono George Fred Kagimu yagambye nti eno kati egenda kufuuka nkola nti era bakubaga etteeka eliwaliriza abantu okuyonja ebitundu gye basula sso ssi kulindanga bakulembeze, kuba olumu ensimbi zilwawo okujja kasasiro najjula amayumba g’abantu, olwo ekiddiria z’endwadde ezisibuka ku bujama okubazinda
Ssentebe we kyalo kye Kikooza Kimbowa Tonny Ssonko yeyamye okukyusa abavubuka batandike okw’ekkiririzaamu, era bakole ebyo byennyini ebiyinza okutwala ebitundu mwe babeera mu maaso, era n’abakunga okukomya emize omuli okunywa ebitamiiza, okuwemula, okubba nebilala.
“Nze ndi MULASITA era nina ne nviiri nnyingi ku mutwe naye silina kitamiiza kyonna kyenkombako era siberangako mu mize gya bubbi yensonga lwaki abatuuze bannonda okubakulembera” Kimbowa bwe yategezezza.
Emikolo emikulu gigenda kubeerawo nda 8 omwezi guno wali ku kitebe kye Gombolola ya Ssabasajja Nanfumbambi Ntenjeru mu Kyaggwe.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com