Bya Moses Kizito Buule.
OMUBAKA wa maserengeta ga Mukono Johnson Muyanja Ssenyonga alabudde abazadde okukomya eky’okusalirawo abaana baabwe ku masomo ge bagenda okutwala mu matendekero agawaggulu, kyagamba nti kikosa abayizi mu mitima ne baggwamu amaanyi bwe baba nga balina ebirooto byabwe eby’omumaaso.
Muyanja agamba nti abayizi bbo benyini be balina okukola okusalawo okusembayo ku masomo ge baba bagenda okutwala, nga kino bakikola olw’ebigendererwa byabwe nga abantu ssi bazadde baabwe, era naga olumu baba bakirabye nga amasomo ago ge gagenda okubanguyira okuyita okusobola okweyongerayo.
Okwogera bino yabadde ku mukolo ogw’ategekeddwa abatwala essomero lya St. John’s Secondary elisangibwa ku kyalo Namuyenje e Mukono, wakati mu kusabira abayizi ba S.4 ne S.6 abagenda okutuula ebigezo byabwe eby’akamalirizo ebitandika omwezi guno.
“Abayizi temukkiriza bantu balala kubasalirawo ku biseera byammwe bya mu maaso, kuba nammwe kati mukuze mumanyi kye mwagala, ne kye mwagala okuba mu biseera by’omumaaso, mbasaba mwewale ebikemo ebiyinza okubawugula okubajja ku mulamwa, kuba Bazadde bamwe batunulidde mwe okubayamba nga mukuze” Muyanja bwe yategezezza.
Omuwandiisi w’obulabirizi bwe Mukono Rev. Canon David Mpagi eyakulembeddemu okusabira abayizi, yabasabye okukomya omuze gw’okukwata obubi abasomesa nga bababonerezzaako bwe baba nga balina kye basobezza, kye yagambye nti bano baba babayamba kufuuka batuuze babuvunanyizibwa mu maaso yonna gye banagenda naga bamaze okusoma.
“Olumu abasomesa bammwe mubalaba bubi saako n’okubavumirira, nga mugamba nti babatulugunya, ekyo kikyamu nnyo kuba bambi abantu abo bamala ekiseera kinene nga bategeka ebintu ebirungi bye banabasomesa saako n’okufuna engeri gye babibateeka mu mitwe mu biyige bibayambe okusobola okufuuka abantu b’obuvunanyuizibwa mu maaso.
Akulira essomero lya St. johns Henry Ssentongo Ssali yanyonyodde nti gyebuvuddeko batandikawo enkola ey’okulondoola abayizi baabwe gye baba bagenze nga bamaze okusoma, kye yagambye nti kino bakikola oluvanyuma lw’okizuula nti bano baba bakiise baabwe mu bitundu ebyo kale bbo nga essomero tebayinza kubaleka bulesi ne batabafaako.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com