Bya Moses Kizito Buule Mukono
ABAAMI b’amaGombolola mu Ssaza lye Kyaggwe beeyamye okuttukiza emirimu gya bulungi bwansi mu Ssaza lino, oluvanyuma lwa Katikkiro Charles Peter mayiga okubakunga bategeeze abantu be bakulembera obukulu obuli mu nkola eno.
Bino babituseeko mu lukiiko lwe b’atuzizza ku kitebe kye gombolola ya Mituba 4 Kawuga mu Munispaari ye Mukono ku mande, bwe babadde basisikanye okutema empenda butya bwe bagenda okujaguza olunaku lwa bulungi bwansi olw’omwaka guno, olugenda okukuzibwa mu Ssaza lye Kyaggwe.
Bagambye nti bagenda kufuba okulaba nga enkola eno tedda mabega nti kubanga bakizudde nti elina ky’eyongerako ku nkulakulana y’abatuuze muKyaggwe, n’addala abo abasobodde okuggulawo amakubo agaali gatabangawo mu bitundu byabwe, kye bagambye nti kati gagenda kufuuka gamugaso eriabalimi n’abasubuzi nga bagayisaako eby’amaguzi okubitwala mu butale b’afune ku nsimbi ez’egasa,kubanga gy’ebuvuddeko entambula ebadde ebakosa olw’okwekoloobya mu makubo agabaddewo nga gayita wala.
Basiimyemu ak’ensusso abatuuze b’omugombolola y’a mituba 9 Goma,Mumyuka Nakifuma saako ne Mituba 4 Kawuga olw’emirimu n’obumu bwe bakozesa nga bakola emirimu, omuli okuggulawo amakubo, omuli elisala mu mugga Nkalele ku lwe Gayaza nga bakozesa nkumbi, saako n’okuggulawoolulala olugatta Nabbale ku Kasawo ku kyalo Nabalanga, n’okusimbaekibira kya beene ku kyalo Nabitimpa e Nama.
Omukubiriza w’olukiiko lw’egombolola ya mituba 9 Goma RichardSsekabira yasabye abaami bonna mu Kyaggwe, okuyambako ku gavumenti ya Ssabasajja saako ne y’awakati mu kukunga abantu b’enyigire butereevu mu mirimu gy’abulungi bwansi egiyamba okusitula ebitundu byabwe omuli okugogola enzizi, okulima amakubo amatonotono, saako n’okuzimbira
abakdde abatakyesobola mayumba.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com