Bya Moses Kizito Buule.
AKULIRA eby’enjigiriza mu Disitulikiti ye Hoima Godfrey Serwanja alabudde abasomesa abakozesa enkola ey’okugoba buli kiseera abayizi ku massomero, kyagamba nti kikyamu kuba kivaako abaana abamu obutatuuka waka mu biseera n’abamu ne benyigira mu mize emikyamu wakati mu makubo nga baddayo eka.
Okw’ogera bino yabadde ku ssomero lya Our Burner pulayimale elisangibwa mu kibuga kye Hoima ku lw’okusatu bwe yabadde akwasa abayizi ebirabo abasinga banaabwe mu mpaka ze mizannyo egyaliyo gye buvuddeko.
Serwanja yagambye nti abasomesa ebiseera ebisinga bafaayo nnyo ku ky’okusolooza ensimbi okuva mu bazadde, kyokka ne batafaayo kulondoola mbeera abayizi be basomesa mwe babeera oluvanyuma lw’okuva ku massomero.
“Nkizudde nti abayizi bangi naddala abawala abato bafuna embuto, nga kino kiva ku mbeera yakubagoba kudda waka kukima bisale bya massomero, bano mu makkubo basanga abalenzi abatasoma ne babasenda senda okukakkana nga babatunuzza mu mbuga za sitaani n’ekivaamu kufuna mbuto olwo eby’okusoma byabwe nga bikoma awo.” Serwanja bwe yategezezza.
Yagambye nti kyetagisa abazadde babawandikirenga obubaluwa obubajjukiza okusasula ebisale, abayizi babutwalenga nga baddayo akawungeezi so ssi kubagobanga buli kiseera baddeyo eka mu kifo ky’okusoma.
Yakyukidde abazadde abatayagala kusasula nsimbi z’ammera ku massomero n’agamba nti kino bakikola mu bukyamu nti kubanga Gavumenti yabayambako ku bisale byokka, nga bbo bebalina okwefaako ku ky’okuliisa abaana baabwe.
“Banange omuyizi omuyala tasobola kukwata bimusomeseddwa ne bw’oddamu emirundi kikumi nga enjala emuluma oba omala bya mu bulago, ffe abasomesa ekyo tukimanyi, naye olw’okuba namwe temufaayo tukoleki nga obuvunanyizibwa bwamwe mwabusuula” Serwanga bwe yakalatidde abazadde.
Ye akulira essomero lya Our Burner James Mujabi yasabye Gavumenti ebanguyize ku misaala nga bwebadde ekola emabega kye yayogeddeko nga ekimu ku bintu ebimalamu abasomesa amaanyi nti kubanga baba balindirira emisaala egyo nabo bazeeyo abaana babwe ku masomero.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com