Bya Kiyimba Bruno
Kiyimba.bruno@gmail.com
Omukulembeze omupya eyakalondebwa muntebe ya Uganda Olympics Comitee [UOC] Mw William Blick empale zimunyegenya olwa National Council of Sports [NCS] okuvayo nelabula nti yalondebwa mubukyamu.
Okusinziira mukiwandiiko ekyafulumizidwa sentebe wa NCS Mw Onyik Bosco olunaku lwegulo, kilaga nti Blick nebanne balondebwa ebibiina musanvu nga ate NCS tebimanyi.
Mwezo ezalonda nga tezikirizibwa mateeka mwemuli aba rugby Union,Rowing Association,Shooting sports Federation,Table twnnis Asociation,Wrestling Association,Fencing Association,Gymnastic Association, and the Equestrian Associations.
Kino aba NCS bakivumiridde nga bagamba nti sibuli analemelelwa okutukanagana nomutindo gavumenti gweyeetaga nti anadukiranga mu UOC.
Nicholas Mulamagi, nga ono ye sabawandiisi wa NCS agamba nti abantu bangi UOC bali bagifudde kidukilo kyabonoonyi naye kano kekaseera akobutaleka yadde akaloolo nga katakula.
Wano sentebe wa NCS Mw Onyik waviliddeyo nakakasa banaUganda nti NCS teri mu kulwanyisa badukanya mizanyo naye wabula batukiriza ebyo ebisanyizo amateeka ga gavumenti ya Uganda bye geetaaga.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com