Bya Musasi waffe
Frank Gashumba okulembela ekisinde kya Sisimuka Uganda akubye Abasoga akaama, nabagamba nti okuva Pulezidenti Museveni bweyabawa Kyabazinga, tebalina nsonga lwaki bamunenya bwamuwa omulimu omulala.
Yagaseeko nti obwavu obuli e Busoga n’owemindi asena era nti Abasoga tebalina kilala kyakukola okujako okwewaayo mu mikono gya Museveni.
“Nabagamba dda nti okubavuwaza kili mu pulaani za NRM, kubanga kibeela kyangu okufuga omuntu omwavu,” Gashumba bweyagambye kumukutu gwe ogwa fesibuuku.
Awo weyavudde neyewuunya abo abakuba ndekamwoyo olwokuba Museveni yawadde Kyabazinga obwa ambasada kubanga bakimanyi Pulezidenti yeyalonda Nadiope IV okuba mu kifo ekyo.
“Museveni ayagala kukumila Basoga mu bwavu,” Gashumba bweyagambye.
Munamasaka ono agamba mbu ekibuga kya Busoga ekikulu ekye Jinja kyesudde eddakiika 40 zokka okuva e Kampala naye kyewunyisa okuba tebalina kyebatunda mu Kampala nga mukatale ke Nakasero! Ekisinga okwemwewunyisa mbu Jinja kyali kibuga ekyalina amakolero na massomero agamaanyi naye nga kati kyafuuka kya banvunza, bamabebbere!
Awo Gashumba wagambira nti okuva Abasoga webakiriza omukopi okuva Ankole abawe Kyabazinga, tebalina nsonga lwaki bekaabya ate nga bamuwa ebeetu okola byayagala mu Ggwanga lyaabwe.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com