Bya Moses Kizito Buule

OMUMYUKA wa   ssabaminisita  ow’okubiri Haji Ali Kirunda  Kivejjinja  awadde  amagezi  abakulembeze be Ssaza lye Bungoma mu Ggwanga lye Kenya okuvaayo bakozese omwaganya  gw’amakolero agaali  kunsalo  ya  mawanga  gombiriri  okusobola  okutumbula  eby’enkulakulana  mu kitundu kyabwe.

Kivejinja  agamba nti  amakolero   okuli elikola  ebigimusa  Pulezidenti lye yagulawo  gy’ebuvuddeko  bw’ebagakozesa obulungi  bagenda kugaganyulwamu nnyo ate ssi bokka wabula  n’amawanga amalala  mu Africa ey’omuseekati  n’obuvanjuba.

Bino   yabyogeredde mu ofiisi ye Kampala  bwabadde  ayaniriza  ekibinja  kya    bakungu 45 abavudde mu ssaza lye Bungoma Kenya abakulembeddwamu   Governor we ssaza   lino Wycliffe Wagamati  abazze  okulaba nga banyweza omukango mu byesubulagana, mu by’obulamu, eby’obulambuzi    n’ebyenjigiriza mu district za Uganda ez’okunsaalo.

Amyuka akulira ekitongole kya UIA Godfery Ssemakula nga ayaniriza omubaka wa Kenya mu Uganda Awere Otara.

Ono awadde bana Kenya amagezi   okwekwata   amakolero  ga Uganda kubanga mu ebintu   ebigenda  okukolebwa mu factory nga  Osukulu,  bigenda  kubaawo mu kiseera  nga    tebigwaawo, era abategezezza  nga  bwekiri mu mikono  gyabwe   okusalawo   ku   by’enkulakulana  kulwabwe   n’abaana      babwe.

Amyuka   ssenkulu   ow’ekitongole   ekisikiriza    bamusinga   nsimbi  ekya Uganda Investment Authority Godfery    Ssemakula    ategezezzanga nga  mu kiseera   kino  ekitongole  bwekiri  kuddimu   ly’okubunyisa   amakolero mu ggwanga   lyonna    bana Uganda bonna   basobole    okugabanaku kkeeki ye ggwanga.

Ssemakula   agamba  nti   ebibanda    by’amakolero 27 bye bigenda   okutekebwa mu ggwanga   lyonna  nga    kubino   kuliko 4 ebya Science ne Tekinologiya   okuwa    omukisa  buli   kitundu  kye  ggwanga  okulakulana   n’okufunira   abatuuze    emilimu.

Amakolero  ga   Namanve   yokka   gakuwemeta   obukadde   bwa   doola    za America 245 okuteekamu   enguudo, Amasanyalaze, saako   n’amazzi   n’ebyetagisa   ebirala  nagatako   nti  omulimu   bwegunagwa  basubira  okuba    n’amakolera 301 nga   bana Uganda 200,000 be basubirwa   okufuna     emilimu.

Wabula  anonokoddeyo   obuzibu   bwe bolekedde   obw’okufuna   ettaka   okutali    bantu  ate   ng’eririko   abantu   lyabuseere   nnyo   olw’okuba   nti   abantu    babeera  balina   okuliyirirwa  okusobola  okuvaawo, era bwatyo   nasaba   gavumenti   bwe wabaawo   ettaka    okutali   kikolebwako  libawebwe   kisikirize    bamusiga   nsimbi    okujja mu Uganda.

Hajji-Kivenjinja-Gavonor-Wagamate-Ambassador-Phibby-Awere-Otara-n’abakungu-abarala-okuva-e-Kenya..

Ye omutandiisi   w’omukaango   gunno    nga   nye mubaka   wa Uganda e Kenya Amb   Phibby  Awere  Otala  alaze   obumativu   nti  ebintu  eby’agulibwanga   ebunayira   kati   bikolebwa    wano, n’ategezza    nga  bwagenda  okwogera  okutunda   ebyemaguzi    bya Uganda mu mawanga     amalala.

Ye Governor w’essaza lye Bungoma   Wagamate  agamba  nti  bagenda   kwekenenya  emikisa  egiliwo  okutumbula enkola gana  wakati   wamawanga   ng’ombi    n’addala district eziri  kunsalo  eyawula   amawanga ago.

Agamu ku  makolera   gebalambudde  mwe  muli    Namunkekera Rural Industrial Center esangimbwa e Kapeka   eyatandikbwawo   muto   w’omukulembeze we ggwanga Gen SalimSaleh, Roofings Limited, Quality Chemicals n’amalala.

Comments