Bya Moses Kizito Buule.

OMUBAKA  we Kibuga kye Mukono Betty Nambooze Bakireke avuddeyo n’asaba ekitongole kya poliisi ekinonyereza ku misango okukola amangu okunonyereza ku musango gw’avunanibwa mu kooti e Nakawa, asobole okufuna obw’ekanya nga bukyali kuba akooye okwewuuba mu kkooti buli kadde ng’ate embeera y’obulamu  gyalimu mu kiseera kino si nnungi.

Nambooze agamba nti abakola ku kunonyereza mu musango gw’okukuma mu bantu omuliro gw’avunanibwa, bakola kasoobo, kyagamba nti ky’ongera okuteeka obulamu bwe ku bunkenke nga buli kiseera aba yelalikirira ku kiba kigenda okuddako.

Okw’ogera bino yabadde awayamu ne bannamawulire abamusanze mu makaage agasangimbwa ku kyalo Kavule mu Division ye Mukono .

“ Nsaba poliisi ekole mangu okunonyereza naye ekintu ky’okwogezangayo okw’eyimirirwa kwange buli kadde ku kkooti n’ebakwewubisa buli kiseera  nakyo kati kifuuse kibonerezo, kuba ekiseera ky’empitamu sikilungi nakamu, banange yadde njogera naye ndi mulwadde ddala”Nambooze bwategezezza.

Yanyonyodde nti mu kiseera kino bw’atandise okuwulirako obulungi, wabula ng’obulumi obukyasigaddewo bwe buli mu kugulu ate nga n’ekiseera abasawo kye bamuwa okuddayo e Buyindi okw’ekebejjebwa nakyo kilabika nga kiweddeko .

Ono yagenze mu maaso nakukulumira gavumenti okuba nga n’okutuusa kati tewali muntu yenna gweyali ekutte saako n’okuvunaana  kunsonga z’okukuba Ababaka Palimenti nga 27/9/2018 bwe bali bawakanya eky’okukyusa ekkomo ku myaka gya pulezidenti.

yannyonnyodde nti omuntu eyakulemberamu ebikolwa bino azze amwogera lunnye nga ye  yali addumira Poliisi mu Kampala n’emiriraano mu kiseera ekyo Frank Mwesigwa, wabula ng’ono akyali bweru ayinayina kyokka nga abakosebwa mu kavuvungano akaaliwo bakyapooca n’obuvune obw’abatusibwako ab’eby’okwerinda.

Mungeri yemu yakukulumidde kkooti bweyamuyita  oginnyonnyole ku byamutukaako bwe yali mu palimenti kyokka ekyamwewunyisa ate b’ebalamuzi okudda mu kumunenya ku by’okutazaayo nsimbi mu buliwo n’akozesa cheque n’ategezza nga ye mu kiseera ekyo bweyali ku kitanda nga tewali ngeri yonna gye yali ayinza kutwala nsimbi ezo.

Nambooze yaggulwako omusango gw’okukozesa obubi ekyuma ki kalimagezi mu biseera omugenzi eyali omubaka wa Arua Munisipalite Ibrahim Abiriga mwe y’attirwa, era nasibibwa mu kkomera e Naggalama oluvanyuma Poliisi gye yamujja nga mulwadde n’atwalibwa mu ddwaliro e Kiruddu gye yava n’atwalibwa mu Buyindi.

Wabula Nambooze bwe yakomawo yayitibwa Poliisi ku kitebe e Kibuli gye yakitegerera nti yali agguddwako omusango gw’okukuma mu bantu omuliro era n’akwatibwa natwalibwa mu Kkooti e Nakawa omulamuzi gye yamuyimbulira ku kakalu ka Kkooti nga n’okutuusa kati aky’ewuuba ku misango egyo.

Comments