Bya Moses Kizito Buule

AKULIRA ekitongole ekilwanirira eddembe lya Bannamawulire ki Human Rights Network For Journalists Uganda Robert Sempala alabudde abantu ab’efunyiridde okutiisatiisa Bannamawulire ne kigendererwa eky’okubalemesa okunonyereza ku biba bigenda mu maaso mu bitundu mwe bakakkalabiza emirimu gyabwe, nagamba nti ab’ebyokwerinda balina okubaako kye bakola amangu ddala.

Sempala agamba nti Poliisi n’ebitongole bye by’okwerinda ebilala tebalina kusilika busilisi nga embeera y’okwewerera Bannamawulire egenda mu mu maaso mu Ggwanga.

Abadde ayanukula ku mbeera ye kibaluwa eky’asuliddwa eggulo ku Ofiisi ya leediyo ya CBS esangibwa mu kibuga Masaka nga kilimu olukalala lwa mannya ga Bannamawulire 12 nga babewerera okubatta nga babasanjaga ne biso, oba okubalungira obutwa bafe.

Agambye nti teri nsonga lwaki abantu ab’emitima emibi baagala okutta Bannamawulire, nagamba nti wewabaawo omuntu yenna alina obuzibu ku w’amawulire asobola okukozesa emikutu gyonna egy’amateeka n’amuvunaana okusinga okusinga okumutemula.

“Banange ensonga eno tugitwale nga ssi yakusaaga kubanga abantu bangi balarikiddwa okuttibwa ne babitwala nga eby’olusaago naye oluvanyuma abatemu bagenda mu maaso ne babatta, kale tusaba Poliisi ekole eky’etagisa kyonna mu kunonyereza okulaba nga ekwata abasasaanyizza ebibaluwa bino, saako n’okukuuma Bannamawulire baffe” Sempala bwe yagambye ku lw’okubiri.

Gyebuvuddeko Munnamawulire wa CBS mu kitundu kye masaka Tomusange Kayinja abantu abaali babagalidde emigemera wala bamuteega bwe yali adda mu makaage, n’ebakuba amasasi mu motooka ye era n’ebamutwalako ensimbi zonna ze yali nazo.

Mu Bannamawulire abalarikiddwa okutibwa kuliko Farish Magembe asakira amawulire ekitongole kya NBS, Tomusange Kayinja owa CBS, Jamir Kalanzi CBS, Nsubuga Robert, owa BBS TV, Male John CBS, Jacinta  Bwanika owa BUKEDDE TV, Ssozi Ssekimpi Lwazi CBS, Mukasa Kipecu Kamunye, Mutyaba Gertrude owa Monitor, Yisa Aliga owa NTV, Dismuns Bulegyeya owa New vision, ne Norman Kabugu owa Kamunye.

 

 

Comments