Bya Moses Kizito Buule

EYALI akulira ekibiina kya FDC Gen. Mugisha Muntu alabudde bannakibiina beyaleka mu FDC okukomya okumulumba buli bwe bafuna akakisa okw’ogerako eri abantu, nabawa amagezi mu kifo ky’okumulumba amaanyi bagamalire ku kusala magezi butya bwe bagenda okukyusa obukulembeze bwe Ggwanga.

“Abannumba nze sibalumbangako okuva bwe nava mu FDC, singa bannaUganda betegereza bulungi bye mbadde njogera mu maaso ga bannamawulire ne ku mikutu gya leediyo ne ttivvi, silumbanga ku muntu yenna yadde okuyisa amaaso mu bakungu be naleka ku kitebe kya FDC e Najjanankumbi. Naye kinenyamiza okulaba nga abatanzikiririzaamu buli lwe bafuna omukisa okw’ogera mu bantu bansimulizaako ebisooto.” Muntu bwe yagambye.

Okw’ogera bino yabadde ku gumu ku mikutu gya Lediyo ku lw’okubiri, nga ayogera ku bikwata ku mugendo gwa THE NEW FORMATION, gw’akyatambuliramu nga bwalinda okukola ekibiina kye by’obufuzi nga bwe yasubiza bannaUganda bwe yali ayabulira FDC wiiki ewedde.

Yanyonyodde nti abavuganya Gavumenti mu kifo ky’okumalira amaanyi mu kw’elyamu enkwe n’okweseketerera, bandizimbye buzimbi buwagizi kuva wansi nga Museveni bwe  yakola, sso ssi kuguguba kwokka.

“Nze New Formation ngenda kugiteeka wansi mu bantu ngizimbe kuva eyo, kubanga ekibiina ekitalina mirandira kuva wansi tekiyinza kugenda mu maaso, n’akukwata bukulembeze bwa Ggwanga lino, ekyo nno kye mbadde nga ntegeeza banange bembadde nabo mu FDC nga tebakitwala nga ekikulu. Ate nammwe abali mu bibiina ebilala temudda mu kuseka, wabula tukwataganire wamu okulaba nga tukyusa obukulembeze bwe ggwanga lino kuba kye kizibu bannaUganda bonna kye balina.” bweyategezezza.

Yewaanye nti talina kusalawo kwe yali akoze mu bulamu bwe n’atawangula, omuli okuva e Makerere mu yunivasite nagenda mu nsiko gye y’egattira ku maggye ga NRA, okuva mu NRM okugenda mu FDC, saako nakuno kwe yakoze okuva mu FDC, nagamba nti bannaUganda balindirire ekijja.

Muntu Yaliko omuduumizi we Ggye ly’eGgwanga erya UPDF era nga yawummula amaggye nga atuuse ku ddaala lya Major General.

o

 

Comments