AKULIRA offiisi ya Ssentebe we kibiina kya NRM ONC esangibwa e Kyambogo Hajjat Hadijjah Namyalo akyaddeko ku kitebe ky’obwaKabaka bwa Buganda e Mengo ne kigendererwa eky’okuwagira entekateeka ye misinde gy’okukuza amazaalibwa ga Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ag’omulundi 68.
Emisinde gino egiddukibwa buli mwaka, kuluno gigenda kutambulira ku mulamwa ogw’okulwanyisa obulwadde bwa mukenenya.
Hajjati Namyalo ayaniriziddwa Minisita omubeezi ow’ebyemizanyo Henry Sekabembe era nga ono yakulira enteekateka ye misinde, ategezezza nti Kabaka tasosola mu bantu be nti era ayaniriza buli muntu.
Yebazizza Hajjati Namyalo olw’okukulembera abavubuka envumuulo abamuwerekeddeko, era namwebaza olw’okuvaayo okuwagira entekateeka z’obwaKabaka omwali n’okugula tikiti z’omupiira gwa masaza ga Buganda ogw’aliwo gye buvuddeko.
“Olutabaalo lw’ebyobulamu telososola mu mawanga, Telusosola mu ma ddiini, telusosola mu bibiina bya bufuzi era siliimu tasosola muntu yenna, kale kiba kilungi ffenna ne tweagattira wamu okulaba nga tulwanyisa ekilwadde kino” Sekabembe bwagambye.
Yasiimye ettu elileteddwa offiisi ya Ssentebe wa NRM lyagambye nti lijja kubaako ekyamaanyi kye ly’ongera mu kulwanyisa obulwadde bwa mukenenbya saako n’okuyamba obwaKabaka mu kawefube we by’obulamu.
Bwabadde ayogerako eri bannamawulire mu Bulange Hajjati Namyalo ategezezza nti Puklezidenti Museveni mwetegefu okukwatira awamu ne Gavumenti ye Mengo okulwanyisa obulwadde bwa Mukenenya, era nasambajja ebigambibwa nti omukulembeze tawagira Mengo, kyagambye nti kikyamu kubanga pulezidenti awagira buli kimu ekikulakulanya abantu mu Buganda.
Oluvanyuma awaddeyo ensimbi obukadde 30 ez’emijoozi abaddusi gye bagenda okukozesa nga badduka ku lunaku lwa Sande era nga Ssabasajja yenyini yagenda okusimbula abaddusi okuva mu lubiri lwe olw’eMengo mu Kampala.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com