ABAKULIRA e ssomero lya Pearl Junior school elisangibwa ku kyalo Kapeke mu Gombolola ye Nama e Mukono bawadde abasomesa babwe obukadde bwe nsimbi 5 mu ngeri y’okubeebaza okusomesa saako n’okuyisa abayizi be kibiina eky’omusanvu abatuula omwaka oguwedde.
Essomero lino nga gwe mulundi gwalyo ogusoose okutuuza abayizi mu p7 baatuzizza abayizi 25 nga kubo 21 baayitira mu ddaala elisooka ate 4 ne bayitira mu ly’okubiri.
Omutandisi we ssomero lino Ssalongo Joseph Mugisha agamba nti omulimu gw’okusomesa abaana ssi mwangu nga bwe kityo kyetaagisa okusanyusa abagukola basobole okuddamu amaanyi.
“Abasomesa bange wano ku Pearl Junior school baakola omulimu mulungi okuyisa abaana omwaka oguwedde ye nsonga lwaki nsazeewo mbaddizeeyo akasente ne birabo ebilala mu ngeri y’okubasiima baddemu amaanyi ate bongere okusomesa omwaka guno.
Abasomesa bange mbawaddeyo obukadde 5 beterezeemu nga olusoma luno lutandika kubanga nakilaba nga betaaga okusiima kubanga omulimu gwe bakola munene.
Nkubiriza abazadde okufaayo okusomesa omwana omuwala kubanga alipoota eyafulumizibwa Minisita we by’enjigiriza Hon. Janet Kataaha Museveni yalaze nti abaana abawala bangi tebasobola kumalako kibiina kya p7 nga ne bibuuzo tebabituula.
Ekimu ku birabo byolina okuwa omwana kwe kumusomesa kubanga teri kisinga buyigirize yadde oba owadde omwana ensimbi naye empapula kintu kikulu” Mugisha bwe yagambye nga akwasa abasomesa ebirabo.
Canon David Musa Sebuliba bwe yabadde asabira abayizi, abazadde n’abasomesa yabakuutidde okwesiga ennyo Katonda mu buli kye bakola, nagamba nti emirimu egitaliimu katonda ebiseera ebisinga gitokomoka olw’ebikolwa by’obutali butuukirivu ebikolebwamu.
“Twagala okwebaza abakulembera essomero lya Pearl Junior School olw’okutambuliza essomero lino ku musingi gwe ddiini, kino kye kimu ku bigenda okubayamba abayizi okukula nga batya Katonda basobole okubeera abantu ab’obuvunanyizibwa yonna gye baligenda nga bamaze okusoma.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com