Rt. Rev. Enosi Kitto Kagodo alondeddwa okuba omulabirizi w’obulabirizi bwe Mukono omuggya.
Ono ye Mulabirizi ow’okutaano kasokedde obulabirizi bwe Mukono bwekutula ku bwe Namirembe.
Kagodo yadidde omulabirizi James Williams Sebaggala mu bigere ekifo kyamazeemu emyaka egisoba mu 13.
Alondeddwa mu lukungaana lwa Balabirizi olukyagenda mu maaso mu bitundu bye Lweza mu Wakiso.
Ebyafaayo by’omulabirizi omulonde Enosi Kitto Kagodo
Rev Canon Enos Kitto Kagodo,Azaalibwa Omwami (omugenzi) James Kibirige Kagodo, muzukulu wa Enos Kagodo ate Nnyina ye Ruth Kibirige, yeddira Ngeye ate Nnyina yeddire ffumbe.
Kagodo ye mwana ow’ekkumi mu maka ga kitaawe omugenzi kati James Kibirige.
OKUSOMA KWE:
Yatandikira Katikamu gye yasomera Nursary kuba yali yagenda ne mwanyina Roy Nakakande okutuuka mu ky’okutaano, eno yavaayo nadda ku kyalo gye bamuzaala e Nangwa era nasomera mu Namuyenje Pulayimale okutuuka mu p7.
Yegatta ku Bishop ss Mukono nga eno gye yatuulira siniya ey’okuna.
Yatandika okusoma obuwereza bwe kkanisa mu Grover.C.Wilcox School of Mission and Evangelism n’akoonolayo ebbaluwa mu byediini esookerwako.
Yeyongerayo okukkatiriza eddiini mu Uganda Martyrs Seminary era naafuna ebbaluwa ey’okubiri mu bye Ddiini (Certificate in Theology).
Oluvanyuma yegatta ku Ttendekero lya Uganda Christian University e Mukono naafuna Diploma mu kutambuza eby’obulamu era mu mwaka gwa 2014 naamaliriza Diguli mu ssomu lye limu.
OBUFUMBO:
Baafumbiriganwa ne Maama Catherine Namuddu Kitto nga 16/12/1995, kati baweezezza emyaka (26) Mu bufumbo mukama abawadde abaana okuli ab’omubiri n’ab’omwoyo bano wa mmanga.
- Irene Nambi
- Benjamin Senfuka
- Dickson Lukenge
- Ruth Nagayi Mirembe.
- Deborah Nakitto.
- Jonathan Kuteesa Kaddu
OBUWEEREZA
Natumibwa nga Omubuulizi mu kkanisa y’e Nakoosi mu 1995-1996. Era eno gye yasomera Obubuulizi ffe twasoma emyaka ebiri era nebaza nnyo Ven Kabuuka okunjagala ate n’okunsabira era yampa ebiteeso bye nakozesanga.
1997-2001,St Stephen Namasiga C/U ng’omubuulizi
2001-2005,Naminya Parish ng’omusumba
2006-2009,Njeru Parish ng’omusumba
2010-2013,St Phillips and Andrews Cathedral nga Vicar
2014-2015,-Sabadiikoni wa Lugazi eyasooka
2016-2018 Ssabadiikoni we Seeta
2019 okutuusa kati nze Diini wa lutikko y’abatukuvu Firipo ne Andereya ku Bulabirizi.
OBUVUNANYIZIBWA OBULALA
Yaliko omukulu w’abavubuka mu Kkanisa ye Namuyenje
Yaliko Ssentebe w’eKyalo –Nangwa LCI emyaka ettano
Yakulirako abavubuka ku muluka era nga ye Kkansala wa Namuyenje ku Gombolola e Nakisunga.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com