Pulezident Yoweri Museveni asiimye Mw.Mathias Magoola eyatandikawo eddwaliro eritunda eddagala erya Dei Biopharma Pharmaceutical Company kulw’okunywerera ku emu ku nnono za NRM ey’okukulakulanya Uganda ng’ ayitira mu kusitula embeera z’abantu n’okutumbula eby’enfuna .
Bweyabadde aggulawo ekkolero erikola eddagala ezzungu n’erigema e Kigogwa, Matugga, kulwokutaano, pulezidenti Museveni yagambye nti okuviira ddala kuntandikwa gavumenti ya NRM yategeezza bannayuganda nti eyagala kuzimba Uganda eyeetengeredde (so si Uganda egula ebintu okuva mu mawanga amalala) era yabadde musanyufu nnyo eri Mw.Magoola kulw’okutwaala amagezi geyamuwa agavuddeko okuziimba bw’agguuga w’ekkolero matiribona erikola eddagala eryaffe ezzungu n’erigema.
“Nkusaamu ekitiibwa Magoola. Wasirika mu kiseera ky’ewatulugunyizibwa. Oli mulwaanyi. Olulala waabalukawo olutalo wakati we n’abayindi bwe baali beegasse. Baamubba. Nzisaamu ekitiibwa Magoola, famire ye ne banne kubanga kino kye kimu ku ‘kukulwanirira eggwanga’. Tukugira ate netusigala ku mulamwa. Kati Magoola yalinna okulwaana. Buli mufirika (muddugavu) ayagala okukola ekintu ekirimu amakulu alwanyisibwa abantu abafugibwa abaali abafuzi b’amatwaale. Tebalaba kinnusi kiri mu bintu bya mugaso ( muwendo),” Pulezident Museveni yakkaatiriza . Yavvumiridde abamalamu amaanyi bannasaayansi baffe era naakinogaanya nga bwe bakozesebwa abaali abafuzi b’amatwaale.”
“ Tutambula mpola. NRM y’amaanyi. Kati ffena awamu tuwagire nnamba taano ya NRM ey’okuzimba Uganda eyeetengerede mu by’enkulakulana.”
Ku nsonga y’ebintu ebitono ebirina ebikozesebwa mu kkolero lyaffe erikola eddagala ezzungu n’erigema, pulezidenti yabakakasiza nti baakubifuna kubanga bannayuganda bakozi nnyo bajja kusobola okufulumya ebintu ebikozesa okusinziira kubwetaavu.
“Tulina obwetaavu bw’ebikozesebwa nga sitaaki. Sitaaki alimibwa mu India kati. Eddagala lya Quality Chemicals liri ku buseere. Lwaki ? Kubanga ebikozesebwa mu kukola eddagala babigula India so nga ate tulina wano muwogo mwetusobola okujja sitaaki. Twetaaga n’okukola sukaali oyo akozesebwa okuwoomya eddagala erisangibwa mu kkampuni ezitunda eddagala,” bweyalambulude.
“ Njagala okubakakasa ku bikozesebwa. Bannayuganda bakozi nnyo. Singa obalung’amya bajja kukola ebikozesebwa. Tanni taano zewetaaga zijja kulimibwa. Bwewabaawo akatale , ezo tanni taano temuli. Abantu batandise okuzuukuka mpola mpola. Tujja kubawagira. Njagala okweebaza bbanka ya Equity. Bantu bagezi. Balina gaalubindi okulaba ewali eky’omuwendo.”
Pulezident Museveni yagaseeko nti singa waliwo obumu mu bannayuganda ,Uganda esobola okutuuka ku mawanga ga naggwano mu by’enkulakulana era n’esobola okutambulira ku supiidi ey’ekizungirizi oba eyawaggulu mu kwekulakulanya.
“NRM ewagira ba musaayi muto nga Magoola aleeta ebintu ebipya mu Uganda. Olaba nga tuyingira mutendera mupya nga tugaziya eby’efuna. Singa abakulembeze bonna okuli bannabyabufuzi, ab’ebyenfuna n’abeennono tusobola okuba obumu ne bannayuganda bonna tusobola okukulakulana mubwangu.
Akasse kamu n’obuwumbi 800 k’ekkolero ly’eddagala e Kigogwa katudde ku yiika 150 era lyeetegefu okugannyula bannayuganda n’abantu abalala mu nsi endala nga bwerigenda okukola amaddagala amazzungu agatuukana n’omutindo n’erigema ligenda kutundubwa ku bbeeyi ya wansi ko eri ba kkaasitoma . DEI Biopharma egenda kukola amaddagala amazungu gonna agagambibwa okubeera nga geetaagibwa okuli: filgrasm, erythropoietin, ne trastuzumab n’amalala.
Ku luda lwe , omumyuka wa ssaabaminisita asooka ne minisita w’ensonga z’abantu ba East Africa, Rt.Hon.Rebecca Kadaga yasabye ensi endala okuwagira Uganda nga bayitira mu kugula eddagala lya Dei Biopharma Pharmaceutical.
“ Waaliwo ekiseera Magoola lweyaboolebwa ebitongole. Yatulugunyuzibwa naye nga ggwe omukiririzaamu n’omuwagira. Nakutegeeza nga ebintu bigaanye. N’omuwagira; wagamba nti tukyeetaaga,” Rt.Hon.Kadaga yeebazizza pulezidenti Museveni.
“Ndi musanyufu okutegeeza abantu be Congo, Kenya, Sudan, Tanzania n’abalala nti eddagala erituukagana n’omutindo weerire wano e Uganda. Mutuwagire”.
Eyali ssaabaminisita wa Uganda, Rt.Hon.John Patrick Amama Mbabazi yasanyukidde Dei Biopharma kulw’okuzimba ekkolero ly’eddagala erigenda okuzza obujja obulamu bwa bannayuganda.
“ Nkuyozayoza, oweekitiibwa, kulw’omulimu gw’okoze mu kutumbula n’okuwagira pulojeketi eno. Ogiwagidde ne mu biseera ebizibu bweyalabikira nga ekwaamye, “Rt.Hon.Mbabazi bweyayogedde.
Minisita avunaanyizibwa ku nsonga za pulezidenti, Hon.Babirye Milly Babalanda, yeebazizza Magoola kulw’okukozesa amagezi agaamuweebwa pulezidenti Museveni okutumbula ssaayansi, tekinologiya, n’okuvvumbula mu Uganda.
“ Oweekitiibwa, wagamba ssaayansi, tekinologiya n’okuvvumbula by’ebivvuga eby’enfuna yaffe naye abamu ku bannayuganda baabibusa amaaso, abatono nga Dei Biopharma baakuwuliriza ne basaawo ekkolero matiribona mu kyaalo kye Matugga.” Bweyayogedde.
“Magoola ye ow’okulabirako nti bannayuganda abeenyigira mu busuubuzi basobola okuvuganya bulungi mu katale n’abamusiga nsimbi abava wabweeru w’eggwanga singa bateeka mu nkola amagezi g’obawa. Nzikiriza nkusabe okuwa obuyambi Dei Biopharma mu bifo mw’akyeetaaga okuyambibwa. Tufube okulaba nga ekkolero lino lisitulwa ne lituuka ku mutindo gw’ amawanga amalala lifuuke eky’okulabirako eri amawanga amalala,” minisita bweyayogedde.
Omuwandiisi ow’enkalakalira mu minisitule y’ebyobulamu, Dr.Diana Atwiine, yagambye nti beetegefu okuyamba n’okuyimirira wamu ne Dei Biopharma paka nga batuuse ku kyebeteega oba ekirubirirwa kyaabwe.
“Bwebajja gyetuli ku minisitule ne batuwa ekiwandiiko okuli eddagala lye baagala okukola, twalowooza nti kirooto kinnene. Twaagala okubakaka nti tugenda kuyimirira nammwe paka nga mutuuse ku kirooto kyammwe, “ Dr.Atwiine bweyabakakasizza.
“ Eddagala erisinga Dei Biopharma ly’eyagala okukola terikolebwa mu Uganda ate liri ku buseere. Batunnulira kukola ddagala lya kkansa ne ddagala eddala erigibwa wabweeru w’eggwanga ku ssente nnyingi. Okujja kw ‘ekkolero lino kugenda kumerusa ebiwayi ebirala ebitabula n’ebitunda eddagala mu ggwanga,” bweyagasseeko.
Mw.Benedict Muhigo akola nga Direkita wa Dei Biopharma eyakiikiridde Magoola yagambye nti ekkolero weeriri era ly’etegefu okutwala Uganda ku ddaala eddala ery’okutunda eddagala.
Yeebazizza pulezidenti Museveni kulw’okulaba ‘ggolodi’ mu Dei Biopharma n’afuba okulaba nga etuuka ku buwanguzi.
“ Abantu abamu mzeei beyalagira okuwagira enteekateeka eno baatandika kugirwanyisa kubanga baalowooza nti kumala budde. Naye mzeei omukulembeze alabira ewala , alaba emikisa abantu abalala gye batalaba wantu. Ali emabega w’obuwanguzi buno, yee ggwe, “Mw.Muhigo bweyayogedde nga asoma ebbaluwa ya Mw.Magoola.
“Twandyagade okukweebaza kulw’obuyambi bwewatuwa obukadde 20 obwa ddoola ng’oyitira mu Uganda Development Bank. Oweekitiibwa , tukyetaaga obuyambi bwo tusobola okumalirizza okuzimba ebizimbe ebikyasigalidde. Mu myaka etaano tusuubira okuyingiza obuwumbi butaano obwa ddoola naye tulubirira obuwumbi 10 obwa ddoola mu myaka 10,” bweyayogedde.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com