KKooti enkulu mu Kampala kyadaaki esazeewo Dr. Kiiza Besigye asasule obukadde 3 bwokka yeyimirirwe sso ssi 30 nga bwe kyali.
Besigye nga ayita mu bannamateeka be abakulemberwa Erias Lukwago wiiki ewedde yawakanya ekilagiro ky’omulamuzi Siena Owomugisha owa kkooti ento ku luguudo Buganda, kye yayisa nga 25 ogw’okutaano nti yali alina okusasula obukadde 30 mu buliwo okusobola okuteebwa ku kakalu ka kkooti.
Kino kyatabula Besigye ne bannamateeka era ne basalawo okuddukira mu kooti enkulu ne beekubira enduulu nga bagamba nti omulamuzi Owomugisha yakozesa kyekubiira mu musango gw’omuntu waabwe nti kubanga ensimbi ezamusabibwa zaali mpitirivu nnyo okusinziira ku musango.
Enkya ya leero omulamuzi wa kkooti enkulu Micheal Elubu naye akkanyizza ne bannamateeka ba Besigye nti ddala kituufu ensimbi ezasabibwa omuntu waabwe zaali nnyingi kwe kusalawo okuzissa zituuke ku bukadde bwe nsimbi za Uganda 3 bwokka.
Besigye yakwatibwa nga 24 ogw’okutaano mu bitundu bya Arua Park mu Kampala nga alaga obutali bumativu ku bbeyi ye bintu mu Ggwanga era naggulwako omusango gw’okukuma mu bantu omuliro nga 25 era omulamuzi Siena Owomugisha namulagira asasule ensimbi obukadde 30 oba si kkyo atwalibwe e Luzira.
Oluvanyuma Besigye yeelema okusasula ensimbi zino nga agamba nti zaali mpitirivu nga tazirina natwalibwa e Luzira.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com