NGA bannamawulire okwetoloola Ensi yonna bali mu keetalo okusobola okujaguza olunaku lwe ddembe lyabwe, ate bbo banaabwe abalala bali mu maziga olw’eddembe lyabwe okutyobolebwa.
Mu kiseera kino mu Ggwanga Uganda bannamawulitre abasinga bali ku miggo kwe batambulira oluvanyuma lw’okukubwa abakuuma ddembe ate abalala baasalawo okulekulira emirimu ne badda mu kukola ebilala omuli obusuubuzi, nga ensonga enkulu eva ku butasasulwa makampuni gye bakolera.
Munnamawulire we byemizannyo Yusufu Baliruno abangi gwe bamanyi nga (OF UGANDA) mu kiseera kino gakaaba gaakomba oluvanyuma lw’okumala emyaka 20 nga akola ku Leediyo yo Bwakabaka cbs fm nga tasasulwa ekyamuletera okuddukira mu kkooti ye byenfuna gy’amaze kati emyaka 2 nga tafuna bwenkanya.
Ono mu kiseera kino alina ekilwadde ekimubala embiriizi era nga abasawo baamutegeeza nti yetaaga kulongoosebwa, kyokka nga ensimbi zimwekubya mpi.
Nga asinziira mu makaage agasangibwa e Lungujja mu Kampala Baliruno yategezezza nti yatandika okukola ku cbs mu mwaka gwa 2001 era yakolera mu kitongole kye by’emizannyo ebbanga lyonna, nga asaka amawulire saako n’okuwereza emipiira munda mu Ggwanga ne bweru walyo.
Agamba nti yadde nga mugonvu gonvu mukiseera kino era akyali mukozi wa cbs kyokka nga okusasulwa abakulu bagaanira ddala ekyamuwaliriza okugenda okwekubira enduulu mu kkooti nga ayita mu ba namateeka be ba Muwema and compony advocates.
“Ekyamazima ku lunaku lwaffe luno nadibadde nga njaguliza wamu ne banange bwe tuli mu mulimu ogumu naye sisobola kubanga ndi mulwadde naye obubaka bwange eli bannamawulire banange tubeere bumu tulwanyise abatutulugunya.
Abatutulugunya ssi bakuuma ddembe bokka nga bwe kisinga okuwulikika wabula ne bannaffe bwe tukola omulimu ogumu nabo batuyisa bubi mu nsasula ensonga eyo nayo tulina okujoogerako awatali kwetiririra.
Mazima nakolera e Ggwanga lyange era nasikiriza bangi okuyingira omulimu guno naye ntuuka ntya okubonabona nga teri anfuddeko, yadde okuwaliriza be nakolera okunsasula obusente bwange nejjanjabe saako n’okulabirira amaka gange” Baliruno bwe yalajanye.
Yategezezza nti ebbanga liyiseewo nga ali mu kkooti akanze kulinda bwenkanya nga tewali kivaayo, nti kyokka ekisinga okumwelarikiriza kwe kuba nti afuna amaloboozi g’abantu nga gamugamba nti alina okubivaako kuba kkampuni gyalwanagana nayo nnene talina kyayinza kugijjako.
Mu kiseera kino yetaaga ensimbi eziwerako asobole okugenda mu ddwaliro okujjanjabwa, kyokka nga tazirina ate nga ne byetaago ebilala nga omuli abaana okusoma byonna bimutunulidde nawanjagira abasobola okumukwatirako bamuyambe.
Akulira ekitongole ekilwanirira eddembe lya bannamawulire mu Ggwanga Human Rights Network For Jurnalists Uganda HRNJU Robert Sempala ategezezza nti ensonga ya Baliruno bagenda kujetegereza nga bwe banazuula nga waliwo weyetagira obuyambi bwabwe bagenda kugiyingiramu.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com