Essanyu katono litte abantu ba Katonda ab’eKigo ekiggya eky’e Bukasa mu Ssaza lye Masaka nga bajaguza okuweza omwaka omulamba ng’ekigo kino kitondeddwawo.
Bano abaabadde bakungaanye okusonda ssente ez’okugula yingini ye Lyato elinaayamba Abasaserdooti okubunyisa Obutume Bwa Kristu mu kigo ky’e Bukasa ekikolebwa ebizinga 64, ate kyababuuseeko omubaka omukyala akiikirira Disitulikiti ye Kalangala Helen Nakimuli bwe yayingiddewo ne yingini gye baabadde beetagira ddala, era nga mpya ttuku eyekika kya HP 15 ebalirirwamu bukadde bwe nsimbi za Uganda 10 naagitonera ekigo kino kigire nga kikozesa eyo.
Nakimuli era yeyamye okuwa abakirisitu elyato elibalirirwamu obukadde 10, nga muno abasumba n’abawereza ba Katonda mwe bagenda okutambuliranga nga babunyisa enjiri okwetoolola ebizinga ebitwalibwa ekigo kino.
Omubaka Nakimuli yawadde banna Bukasa amagezi okwesenbereza n’okugulumiza Katonda buli kiseera bafune obusaasizi bwe nga kwotadde n’obukuumi.
“Tewali kye tuyinza kusobola nga abantu nga Katonda tetumukulembezza, nange bulijjo ngenda kukola obutebalira okulaba nga nyambako ku mirimu gya Mukama mu kigo kyaffe kino ekikyali ekiggya”” Omubaka Nakimuli bwe yagambye.
Abakkiriza n’abasumba abeetabye ku mukolo guno basiimye Omubaka wabwe olw’okubaddukirira n’obuyambi bwe ntambula.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com