BYA BRIAN MUGENYI
Wano ku yaafeesi ye eye Najjanankumbi, ebitabo ebikwata ku byenfuna, kompyuuta mpozi ne ebifanannyi bya Kabaka Ronald Mutebi ne pulezidenti Museveni bye bikwaniriza.
Bw’oba nga olimugenyi nganze oyinza okugamba nti gano yakola maka. Wabula, kuno okuwaya kwa byamizaanyo. Ebyamaka binaba byaluwalo lulala.
Yafeesi eno gagooga erimu buli kyewandyetaaze okubeera mumakaago. Wabula wano waddukanyisa bizinensi ze awamu nokunonnya ekigulira magalo eddiba.
Emmanuel Lwasa Kaweesi abanji gwebayita omuloodi Munna Buddu olwebyobugaga byategese mukaseera kano teyetaaga kweyanjula nnyo.
Erinnya lye alikoze awaka nemukibira. Amanyiddwa mubyemizannyo, mubyobusubuzi ne mubyemikyakalo atenga musajja mugundivu nnyo n’emubwa Kabaka bwa Buganda olw’omulimu gwakoze mubamusaayi muto.
Lwasa aweza emyaaka 50. Azalibwa omugenzi Yozefu Kaweesi ne
Angella Kiggona abagalamidde e Kyabakuza, Masaka City.
Muntandikwa yasomerako e Kyabakuza ne Kadongo pulayimale olwamala neyaggata ku Kawangwa Secondary school erye Kenya mweyakoma mu siniya eyokusatu.
Wadde nga abasinga ennyo bamumanyi nga omusubuzi mukampuni ya Lwasa Traders Uganda Limited gyebuddeko omukulu ono yalondebwa nga ambasadda wa Express FC mu Greater Masaka.
Kino kyaaliwo kubiseera Florence Nakiwala Kiyingi weyakyakira ennyo mu kkiraabu ya Express songa era amyuuka Moses Magogo kubwa ppulezidenti wekibiina ekitwaala ebyemizannyo mu Uganda ekya FUFA weyali ssentebe wa Express.
Okulondebwa kwa Lwasa, kwayamba Express FC okununula abamu kubawagizi baabwe abaali bababulidde olwensonga nti Nakiwala ne Lwasa basobola okutalaaga ebintundu ebisinga okubunyisa enjiri ya Express.
Buli gyebagenda nga e Bukomansimbi, Masaka nebitundu ebiralala, Lwasa annyumya nti bazannya nga omupiira ogw’omukwano nabatuuze awonno mukamaliriza nebabagabula ekijjulo.
Wabula kukino Lwasa agamba nti kyabakolera. Basoboola okulaba obwaagazi n’enyoota abantu nadala mubyalo gyebalina kumupiira.
Kyokka, sigwegwaali omulindi gwe ogwaali gusoose okwetaba munsonga za Express FC abanji gyebaakazaako elya Mukwano Gwa Bangi. Ttiimu eno agyagala nga ttuuzi twamunsuwa. Era Express ye Lwasa ne Lwasa ye Express!
Kuviira ddala nga akyaali muvubuka Lwasa yegomba nga nnyo Express era kukino agamba nti mukumaliriza yesanga emwesabye mumusaayi.
Kyabanga kizibu nnyo okuva awaka okujja e Kampala okulaba emipiira gyaayo wabula agamba abamu kubakulu bekyaalo ababanga n’obusobozi bagenda nga era nga ye yababuuza nga ebyabadde yo.
Kuviiira ddala mbuto, Lwasa yakula mukalabakalaba. Agamba nti okulemererwa wakiri nemererwa yeyabanga engoobo ye era nakati kwatambulira.
Wadde nga ttiimu eno Express ttiimu kwaafiira yasemba okuwangula liigi yawano mu 2012 eranga negyebuli kati ssentebe Kiryowa Kiwanuka nolukiiko lwe tebamanyi ttiimu eno ddi bwenaddamu okuwangula, Lwasa tanagwaamu ssuubi.
Mubiseera omuzannyi; Hassan Mubiru weyakyakira ennyo mu Express FC oluvannyuma lwokugyegatako ngaava mu SC Villa, abanji webamutuumira ‘Luis Figo’ Lwasa yali muto nayenga erinnya Mubiru lyelimokorera.
Mubiru enzaalwa ya Lukuli, Makindye wano mu Kampala, yeyaguluwa oluji olwayamba Lwasa okwagala Express mpozi nayo okumwagala.
Agamba nti engeri Mubiru gyeyalina obukugu mukuteeba amagolo awamu nokubeera owempisa kukisaawe nebwelu wakyo byamumwagaza.
Awaka wabwe, tebalinga mubyamizannyo nnyo okutwalizaawamu naye ye Lwasa agamba nti yalabirawo nga Express emutute omwooyo.
Obwagazi bwe kuttiimu enno bwajja bukula mpola mpola nga mukwano gwakivubuka, era okuva olwo tafunanga mbeera emuterebula kuva kuttiimu eno.
Ngogyeeko Mubiru, ebilala ebyasikiriza Lwasa okwagala ennyo Express kwekwaali akajjoozi kabwe akamyuufu kagamba nti kalinga kamukolera.
Agamba nti buli mupiira Express bweyabanga egenda okusamba akajjozi kabwe ako akamyuufu kabeeranga kalaga ttiimuemalirivu eranga wakiri okusubwa obuwanguzi eyiwa omusaayi.
Kinajjukirwa nti Express yasooka okuwangula liigi yawano mu 1964. Okuva olwo ebaddeko nabatendesi abenjawulo abasodde okujiwanguluira ebikopo munaana.
Kukino Lwasa, yebaza nnyo omwaami Jolly Joe Kiwanuka eyasima omusinji omugumivu ttiimu ye eno kwetambulira.
Kiwanuka, gwayogerako yeyabanga akulira olupapula lwamawulire olwayitibwa nga Express era kyekyamuvirako no kutandikawo ttiimu eno mu 1957.
Mukaseera nga Express addabuzi ngulu oluvannyuma lwokusimatuuka okusalibwaako sizoni ewedde, bingi ebize bikyuuka. Kuviira ddala mubazannyi, mbatendesi kwoteeka nabatwala ttiimu eno bazebakyusibwa.
Kukino Lwasa takirabamu buzibu.
Agamba nti nemubulaaya amattiimu gakola ennongosereza. Agamba omutendesi Alfred Harold Albut ayasooka okutendeka Manchester United mu 1892 siyaliko kati nabwekityo ne Express erina okubigumira.
Ng’omuwagizi yenna bweyandibadde, Lwasa agamba nti abazannyi be balina abaddumirwa kkaputeeni Isaac Mutanda gyebuvuddeko tebakola kimala.
Lwasa, eranga ye nanyini kampuni ya, Lwaasa Events Uganda Limited ne Lwaasa Gardens agamba nti Express wabula erina abazannyi abato nga; John Revita (Owekiviiri) ne Davis Mayanja bagamba nti bamusambira bulungi nnyo.
Kisaala yali yetaaga budde
Nga bwekiri nti ttiimu yonna okuwangula ekikopo erina okusa obwesigwa mumutendesi waayo awamu nabazannyi, Lwasa naye alowooza nti Express teyandikoze bubi naye obuzibu kukyuusa kyuusa batendesi.
Wabula eri waddewaddeko ng’omubi omweru.
Ebimu kubisinze okuta omupiira gwaawano, Lwasa agamba kyekyokuba nti bananyini mattiimu tebakyalina bwesigwa mubatendesi abawaka. Kukino, alaba nga abatendesi abagwiira batitibwa nnyo bwebegatta kumattiimu wano okusinga abazalibwa wano kyagamba nti sikilungi.
Wabula, musanyu nti emivuyo nga egyo awamu nobutagaliza mu Express tanabirabamu yadde okubiwulira.
Sizoni eno agamba nti siyabwe. Era bwatunula alaba nga amattiimu; SC Vipers, ne KCCA zibayiseeko nnyo era asabirira olunaku lumu ne Express ezirebyeeko.
Ezimu kunsonga zagamba ezibaremeseza okuvugannya obulungi ne zinantamegwa KCCA ne Vipers gyayita ‘ebujje’ atwalibwa omukulu Lawrence Mulindwa, mwemuli ensimbi entono, abawagizi okuba nga tebakyajumbira kulaba mipiira.
Kukyabawagizi agamba nti ekirina okubaza kwekuwangula emipiira awamu nokuzannya omupiira omulungi. Obutafananako nattiimu ndala, Lwasa agamba Express tebaddemu nnyo ntalo.
Kukyensimbi agamba nti budde bwonna wakubaako kyakolera ttiimu wabula omulimu ogwaamannyi gulina okukolebwa mubawagizi awamu nabavujirizi.
Gyebuvuddeko, Express nga eyita mu ssentebe Kiwanuka yasobola okufuna abavujirizi aba kampani yebyemizannyo eya Betway eyabateekamu obukadde 400 kwoteeka nokubawa emijjozi egya bulaaka gyebambala ensangi zino.
Lwasa weyawulira kino yabuka wagulu nga janzi kyokka agamba ensimbi zikyetagibwa okusobola okuwanika Express okuddayo kuntiko.
LWASA MU BUMPI
Erinnya: Lwasa Emmanuel Kaweesi
Emyaka: 49
Bazadde be: Yozeffu Kaweesi ne Angella Kiggona (Bagenzi)
Ttiimu gyawagira: Express
Omuzannyi eyamwagaza Express: Hassan Mubiru
Amasomero gyeyasomera: Kyabakuza, Kadongo ne Kawangwa e Kenya.
Byakola: Musubuzi (Lwasa Traders Uganda Limited), nanyini Club Tarven Kick ne Lwasa Events Company abategeka emikolo.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com