Minisita ow’ebyemizanyo, abavubuka n’okwewumuza mu Bwakabaka bwa Buganda owek. Henry Moses Ssekabembe Kiberu akalaatidde abaSsese okuddamu okufaayo okukuuma obutonde bw’ensi nga omu ku kaweefube anayamba emiti emito mu Buganda okugenda mu maaso.
Oweekitiibwa Ssekabembe okwogera bino yabadde antindizze olugendo ku lyaato okutuuka ku Kizinga Bukasa gye yatongolezza empaka z’emipiira gy’amagombolola mu bwa Kabaka n’alaba ebizinga ebyaali bijjudde ebibira nga kati byaasaayibwa dda, olwo ebimu ne kusimbibwako ebinazi.
Okuva ku kizinga Buggala ewali ekitebe ky’essaza Ssese okuyita ku bizinga okuli Bunyama, Bubembe ne Bugaba, abantu baalimako ebinazi nga kati ebibira ebyaaliko byonna byasaayibwa ky’agamba nti kyonoonye obutonde bw’ensi.
Owek. Ssekabembe eyatuukidde e Bukasa gye yatongoleza emipiira gy’amagombolola, nga bamulopedde nti n’ekizinga Bukasa okujjudde obuwangwa n’ebiggwa ebikulu nga e Kitinda ewa Wanema, abantu baagala okusaanyaawo ebibira basimbe ebinazi kye yagambye nti kino kyabulabe nnyo.
Ebinaazi byatandika okulimwa ku bizinga e Ssese mu 2005 nga kati abantu abasuka mu 1500 nga ogyeeko Kampuni eya Oil Palm Uganda Limited bebeetaba mu kulima ebinazi bino ku ttaka eliweza hectares 12,000.
Oluvanyuma Ssekabembe yatongoza emipiira gy’amagombolola ku Kisaawe Kiziba tiimu ye gombolola Musaale ne Ssabagabo gye bakulembeddemu okuggulawo empaka zino.
Omupiira wakati Ssabagabo Bukasa ne Musaale Bubeke gwawedde maliri nga buli ludda lwateebye egoolo emu ku emu.
Omwami wa Kabaka atwala e Ssaza lye Ssese, Kweba Augustine Kasirye yanyonyodde ekigendelerwa ky’emipiira gy’amagombolola gino kwe kugatta abantu ba Kabaka saako n’okwewummuza.
Bbo ababaka abakiikilira essaza lye Ssese okuli Helen Nakimuli omukyaala owe Kalangala ne Moses Kabuusu atwaala essaza lye kyamuswa beeyanzizza Ssabasajja Kabaka okuteekawo empaka zino ate ne zitandikira ku kizinga Bukasa, e Ssese mu bantu baabwe.
Bano baategeezeza nga bwe bajja okukola ekisoboka okulaba nga bawagira eby’emizannyo mu bwa Kabaka bwa Buganda.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com