ABAKULEMBEZE b’abavubuka mu kibiina kya FDC baweze nga bwe bagenda okufafagana n’abekiwayi kya People Power nga bagamba nti bakooye ejoogo lyabwe nga kwotadde n’okulumbanga omukulembeze w’ekibiina kyabwe.
“Ekyamazima tukooye abavubuka bano abayaaye, era tumaze okubategeera bonna gye bava n’ababatuma, naye tugenda kubakolako kubanga naffe kye bakola tukitegeera bulungi, ate ffe twakisookamu” Sulaiman Ssali Kisaka omu ku bakulembeze ku lukiiko olukulembera abavubuka mu FDC bwe yagambye nga asinziira ku BBS Telefayina y’obwakabaka bwa Buganda bwe yabadde ku emu ku Pulogulaamu y’eby’obufuzi.
Ssali yagambye nti bamaze akabanga akawerako nga beekkaanya engeri abavubuka bano gye bakolamu effujjo ku bakulembeze ab’enjawulo, era nategeeza nti bwe baalumba Dr. Besigye ku Bulange ssi gwe mulundi ogwali gusoose, agamba nti ogwo gwali gw’akusatu nga ogw’asooka baalumba Besigye mu makaage agasangibwa e Kasangati mu Wakiso ne bamukolako effujjo, saako ne Katwe.
“Twasooka kulowooza nti baali ba NRM era twabalwanyisa tumanyi batumiddwa kibiina ekiri mu buyinza, naye twagenze okwekkeneenya engeri gye balabikamu twakizudde nti beebamu abazze bakkola effujjo ku Besigye buli gyaba alaze.
Abavubuka bano bafanagana mu mbeera zaabwe abamu baba batwakadde amaaso ekilowoozebwa nti baba baliko ebitamiiza bye baba bakozesezza, baba abalanze enviiri nga bakambwe nnyo era nga kw’otadde n’okuwumula amatu ne bateekamu ebyuma.
Naye tubalabula kubanga bwe tunabakwatako zijja kudda okunywa, kubanga naffe tuli batendeke ekimala okusoboala okwanganga omuntu yenna anaddamu okulumba Omukulembeze we kibiina kyaffe.
Olaba tulwanyisa ba NRM abalina ne mmundu ezibakuuma kati bano abeeyita aba People Power bajja kututegeera akatufaamu” Ssali bwe yagambye.
Gye buvuddeko abavubuka baalumba Co. Dr. Kiiza Besigye mu luggya lwa Bulange bwe yali ava mu emu ku Pulogulaamu z’eby’obufuzi ku leediyo ya cbs ne bamutegeeza nga bwe baamukoowa okwesimbawo alekere Kyagulanyi yaaba avuganya Museveni ekintu ab’oludda oluvuganya Gavumenti kye bavumirira ennyo.
Wabula Omukulembeze we kisinde kya People Power Robert Kyagulanyi Ssentamu era nga ye Mubaka wa Kyadondo East mu Palimenti yavaayo n’avumirira ekikolwa kino kye yagamba nti tekyali kya bugunjufu.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com