Bya Moses Kizito Buule
SHEIK Umar Kamoga omusomi we dduwa ku masitoowa e Nansana mu Disitulikiti ye Wakiso avuddeyo naalumba Sheik munne Nuuh Muzaata Batte owe kiwayi kye Kibuli gwayogeddeko nga aludde nga amulima empindi ku mugongo nga kwotadde n’okukolagana n’abamulwanyisa basobole okumusiiga ekifananyi ekibi mu bantu.
Sheik Umar agamba nti byonna byakolera abantu biluma Muzaata ne banne, olwo ne basalawo okumulwanyisa afuuke ekitagasa mu bantu, nabasekerera nti ne bwe kiriba ddi tebagenda kumusobola kubanga Katonda yamuwa.
Kino kiddiridde abawala ab’enjawulo okuvaayo okulumiriza Sheik Umar ono nti yabaganza era nabazaalamu abaana kyokka mubugenderevu naagaana okubalabirira, ne kyavuddemu omu kwe kufa ne bamuziika mu limbo.
Bino byonna Umar agamba nti bipangibwa Muzaata ne banne nti kubanga bulijjo amulinako ennugu olw’okuba ayamba abantu, nti era alina elinnya ddene mu ggwanga nga abamu ku befuula nti bakulembeze b’obuyisiraamu tebakyawurikika abasanikidde.
Agamba nti kituufu alina ekigendererwa eky’okuzaala abaana abawerera ddala 140 asobole okukubisa mu kitaawe be yazaala, nti kyokka talina kigendererwa kyakubonyabonya baana n’abakyala nga Muzaata ne banne bwe bagamba.
“Kituufu abawala ab’ogerwako ennaku zino mu mawulire bonna sibegaana nabaganzaako, era ne mbapangisiza n’amayumba buli omu gy’abadde abeera, naye olw’okuba bansubiramu bingi nnyo, bye mbadde sinabawa abamu nga baagala nakujja mu maka gange bakyankalanye ne mukyala wange omukulu kye sisobola kukkiriza, basazeewo mbu okunjabya nga bayambibwako abalabe bange mu mulimu gwe nkola ogw’okusomera abantu edduwa ne bawona” Umar bwe yategezezza.
“Abawala abo mbadde mbawereza ensimbi nga mpita mu bantu ab’enjawulo kyokka kyanewunyisizza nga nabamu kubo bantu baamaanyi nnyo mu diini ye kiyisiramu, mu kifo ky’okukola kye nabasaba ne basalawo kunwanyisa naye bamanye nti nze Umar tebajja kunsobola.
Oyo Muzaata nakabinja ke mbamanyi kati baagala mbayite sigenda kukikola era balabika banoonyako sente sizirina ne ssimu yange tewaba akuba nabakooye” Sheik Umar bwe yagambye.
Sheik Muzaata bwe yabadde akulembeddemu okusaala ku muzikiti gwe Kyengera yavuddeyo nakolokota Sheik Umar gwe yayogeddeko nga omufere, nagamba nti bbo baali bamukwasa Mukama Katonda yaaba amulamula okusinziira ku bintu byakola nga nga akozesa ekitabo ekitukuvu, nti naye kuluno Mukama yamuvuddemu nabo nga abakulembeze b’obuyisiraamu bagenda kumulwanyisa.
Muzaata era yagamba nti yali wakubeera mabega wa Minisita Nakiwala Kiyingi wakati mu lutalo lw’okulwanyisa Sheik Umar aveeyo alabirire abaana bazaala mu baayita abalwadde be
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com