
Bya Moses Kizito Buule
Olukiiko lw’ekibuga Mukono lulambudde emirimu gya lukale egikoleddwa mu kitundu eky’okubiri ekyomwaaka gw’eby’ensimbi, nga mulimu okuddaabiriza ebibiina by’amasomero n’okuzimba ebipya, okuddaabiriza enguudo n’akatale k’eby’ennyanja mu katale ka Kame.
Emirimu gyonna egyawemmense ensimbi ezisoba mu shs. obukadde 300, mulimu okuddaabiriza ebibiina mu masomero ga pulayimale okuli Namiryango, Bishops East, okizimba ebibiina ebiopya ku Ssekiboobo PS, ne Bajjo RC, okuddaabiriza enguudo okuli Serado ne Nantabulirwa e Sseeta, Multanti ne Lufula mu Central Division.
Mu ntegeka eno n’emidaala gy’akatale k’eby’ennyanja mu katale komu Kame gyaddaabiriziddwa.
Akulira eby’enjigiriza mu kibuga mu Mukono Margaret Nakitto yategeezezza The Watchdog Uganda nti ebibiina eby’aserekebwa n’amabaati ag’ekika kya asbestos byaaseruukululwa ne bissibwaako amabaati aga bulijjo, n’agamba nti kyaazuklibwa abakugu nti amabaati ga asbestos ga bulabe eri abantu.

Yannyonyodde nti olw’okuba nti abaana banywa n’okunaaba amazzi agalembekebwa ku mabaati gano, obulamu buli matigga, kwe kuseruukulula amabaati ago ne kussibwaako amalala.
Ebibiina ebyaaseruukuluddwa kuliko ebya Bishop’s East Primary School ne Namiryango Day and Boarding PS.
Joel Biriggwa, akulira kkampuni ya JOF Construction eyawoma omutwe mu kukyuusa amabaati gano, yategeezezza aba kanso nti mu kuzimbibwa, ebibiina bino tebyassibwaako bbiimu, nga bwe kityo obuwangaazi bwaabyo butono, n’awa amagezi babisseeko bbimu olw’okwongerwa obuwangaazi. ENDS…
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com