
Bya Moses Kizito Buule.
EBIKUJJUKO bya sekukKulu abasibe mu Kkomera lya gavumenti e Kawuga bafunye akaseko ku matama oluvanyuma lwa bakkiriza okuva mu kkanisa ya Mt Lebanon Christian Center Cathedral esangibwa e Mukono okubaddukirira n’ebintu ebitali bimu, bibayambe okuyita mu nnaku enkulu.
Mu bimu ku bibawereddwa mubademu eby’okulya nga omuceere, butto, sabuni, emigaati wamu n’ebyokwebikka, nga bino byawereddwayo abazira kisa okuva mu kkanisa eno.
Bwe yabadde abakwasa ebintu bino, Omulabirizi wa makkanisa gano aga Mt. Lebanon Samuel Lwandasa ategezezza ng’ebintu bino bwe bivudde mu mu bakkiriza b’ekkanisa eno ng’akamu ku kabonero ak’okwagala saako n’okulumirirwa abantu abalala abali mu bwetavu.
Yebaziza gavumenti olw’okukuuma abasibe nga bali mu mbeera ennungi saako n’okubeera mu kifo nga kiyonjo kyokka n’abasaba nga tugenda mu nnaku z’amazilibwa okulaba nga bongerera ddala okukuuma emirembe.
Ye Omubaka wa Mukono South mu palimenti Johnson Muyanja yategezza nga omululu wamu n’obusugu obuyitiridde nti bye bivuddeko abantu abamu okugenda mu makkomera bwatyo nabasa okubeera abegedereza.
Ssenyonga yasiimye Omusumba Lwandasa n’abakkiriza be kanisa ye olw’okulowooza ku basibe banno okubawa ebintu saako n’okubasabira nategezza nga kino kye bakoze bwekigenda okubayamba okuva mu kkomera nga balokokedde ddala.
Ye akulira ekkomera lye Kawuga Mary Tamale yasiimye ebintu ebyawereddwa abasibe nagamba nti, ebintu nga bino bizzaamu nnyo amaanyi abasibe ababa bali ku bibonerezo byabwe, nabo ne bamanya nti ebweru eyo eliyo abantu ababafaako.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com