.
Bya Nansamba Shadia. Masaka
SSENTEBE w’ekibiina kya NRM e Masaka Peter Ssenkungu yavuddeyo neyessamula ebimu ku biteeso ebyayisibwa bannakibiina gyebuvuddeko byagambye nti tebyayita mu mitendera.
Ku nkomerero y’omwezi oguwedde bannakibiina kya NRM mu Greater Masaka bakung’aanira ku kisaawe kya Liberation mu lukiiko olw’etabwamu ne ssentebe wa NRM mu Eastern Capt Mike Mukula, nebasaba Ssentebe we kibiina kino era nga ye mukulembeze we ggwanga okukkiriza addemu yesimbewo mu 2021.
Bino Ssenkungu abiyise kunyumyamu nti kuba abantu abaateekateeka olukung’ana wadde bannakibiina naye ye abatwala ng’abaali benoonyeza ebyabwe.
Ssenkungu wadde nga yafuna ebbaluwa emuyita okwetaba mu lukiiko luno, wabula nga teyalinnyayo ategeezeza nti teyamanya kigendererwa ky’alwo nga n’okutuusa.
“N’abantu benyini bebaayita, ate bebuuza ku nze ekigendererwa ky’olukiiko ate nga bakimanyi bulungi ssi nze eyaluyita nga ssentebe we kibiina” Ssenkungu bweyategeezeza.
Abantu abateekateeka olukung’aana luno, Ssenkungu abayise “kabondo kabazirwanako” era bagambye nti bandiba baali batega bumasu mu gavumenti okulaba nga bafuna ebifo ebisava.
Ssenkugu akkiriza nti NRM erina ebizibu bingi, kyokka nga tebiri mu Masaka wokka,wabula nebitundu by’eggwanga eby’enjawulo byagambye nti byetaaga ssentebe we kibiina okubigonjoola amangu ddala.
“Tulina enteekateeka okuleeta Pulezidenti e Masaka, kuba abantu balina enyiike ku mutima,abalala baagala bagabane ku bisawo bya ssente zagenda amansa, naye waliwo n’abo abalumirirwa ekibiina olw’ebintu bya bonna Bagaggawale ebigabibwa nga tebitusigganye n’amutindo”. Ssenkungu bweyakaatiriza.
Omu ku bateekateeka olukung’aana lwa NRM e Masaka era nga ye Ssentebe we kibiina kino mu municipaali ye Masaka , Katumba Ssegawa ategeezeza nti kituufu Peter Ssenkungu yayitibwa , kyokka eky’obutetaba ku mukolo tekitegeeza kuvuluga bibala by’aguvaamu.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com