Bya Moses Kizito Buule
ABASUMBA b’abalokole okuva mu makanisa 1500 agali mu Disitulikiti omuli Mukono, Kayunga Buikwe ne Buvuma bakukulumidde omukulembezze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni obutabafaako bwegutuuka ku by’enkulakulana, ne bagamba nti atera kubajjukira mu biseera bya bululu byokka.
Bano bagamba nti balina Pulojekiti nnyingi ze bataddewo okuyamba abagoberezi baabwe enkuyanja nti naye ne bwe bakabira batya Gavumenti teri afaayo, songa ne zebakungaanya mu bubbo tezimala kuddukanya mirimu mu makanisa gaabwe.
Abasumba bano nga bakulembeddwamu Ssentebe wabwe Omusumba Samwiiri Lwandasa bagamba nti bawulira Presidenti egenda agaba ebikutiya by’ensimbi mu bitundu by’eggwanga ebitali bimu, kyokka nga bbo bwe babaako ne kye bamusaba bongere mu Pulojekiti zabwe ez’okwekulukulanya abakulu tebabafaako, ate nga nabo bakola
omulimu munene ddala ogw’okusabira eggwanga lino n’okulyowa emyoyo gy’abantu.
omulimu munene ddala ogw’okusabira eggwanga lino n’okulyowa emyoyo gy’abantu.
Bannaddiini bano basinzidde mu nsisinkano gyebabaddemu ku Kkanisa ya Mt.Labanon Church esangibwa mukibuga Mukono n’abakungu okuva mu Offiisi ya Pulezidenti okwabadde Muhammed Sadiik Mayanja omuwabuzi wa Pulezidenti ku nsonga za ba RDC ne Maj.Matha Asiimwe naye mukungu mu Offisi eno era nga yavunanyizibwa
Kunsonga ya Operation Wealth Creation.
Lwandasa yasabye gavumenti nti bwebeera nga yakuyamba abantu nga eyita mu ntekateka yaayo eya Operation Wealth Creation yeewale okumala gawa bantu ebintu bye batetaaga, nagamba nti kisingako omuntu okubategeeza ekintu gwe bagenda okuwa okusooka okubategeeza kye yetaaga era kyasobola obulungi okulima oba okulabilira naddala mu balunzi, sso ssi kumala gabawa buli kye basanze ekivuddeko bangi okubyonoona ekiretedde entekateeka eno okudda emabega.
Ye omuwabuzi wa Presidenti ku nsonga za ba RDC Haj.Muhammed Sadiik Mayanja mu kwanukula yayambalidde bannakibiina kya NRM saako n’abakozi ba Gavumenti abadda mukulya obuli ensimbi ne beerabira n’okwogera ku
bintu gavumenti by’ekoze, nagamba nti kye kiseera abantu bano bekenenyezebwe bwe baba tebakyasobola kukola mirimu gy’abaweebwa bagobwe ebifi bijjuzibwe abalina omutima gwe ggwanga.
bintu gavumenti by’ekoze, nagamba nti kye kiseera abantu bano bekenenyezebwe bwe baba tebakyasobola kukola mirimu gy’abaweebwa bagobwe ebifi bijjuzibwe abalina omutima gwe ggwanga.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com