Bya Nansamba Shadia ne Moses Kizito Buule
KATIKKIRO wa Buganda Owek. Charles Peter Mayiga asobeddwa bwatuuse mu Ssaza lya Ssabasajja Kabaka erye Buddu abeby’okwerinda ne bamuyimiriza mu ngeri y’okumutangira okugenda mu Ssaza lye Kooki nga kigambibwa nti ebaddeyo abantu ababadde beetegese okulaga obutali bumativu olw’okukyala kwe mu kitundu kyabwe.
Mayiga yasuze ku wooteeri ya Brovad, bwe bukedde nalagirwa amaggye ne Poliisi okusooka okugenda okubaako akafubo ke yesogga n’abakulira eby’okwerinda mu kitundu kye Masaka, era nga kano katutte ebbanga lya ssawa 2 namba akatakkiriziddwamu bannamawulire.
Ensonda mu by’okwerinda zitegezezza nti kino bakikoze oluvanyuma lw’okufuna okwemulugunya okuva mu batuuze b’omuSsaza lye Kooki, nga bagamba nti tebandyagadde Katikkiro kusaza kigere mu Ssaza lyabwe okujjako nga ajja nga mugenyi wa Mukulembeze waabwe Kamuswaga Apollo Ssansa Kabumbuli.
Kigambibwa nti ekimu ku bivuddeko embeteza kwe kuba nti ebbaluwa entongole ObwaKabaka bwa Buganda gye bwawandikira ObwaKamuswaga bwe Kooki, yali elaga nti Kamuswaga yategezebwako nga Omwami wa Kabaka ku by’okukyala kwa Katikkiro sso ssi nga omukulembeze ow’ennono ow’obwaKamuswaga, nga kino kye kyasinze okujja abaKooki mu mbeera ne bagamba nti Katikkiro Mayiga bwamala naalinnya mu Ssaza lye Kooki bagenda kwekalakaasa.
Wano ab’ebyokwerinda kwe kusooka okumuyimiriza wakati mu lugendo, basooke bekkaanye embeera oluvanyuma basalewo eky’okukola.
Oluvanyuma kitegerekese nti mu kafubo ab’ebyokwerinda bamusabye ababulire ku mirimu gyabadde agenda okukola e Kooki, era n’abategeeza nti abadde agenda kulambula abalimi b’emmwaanyi mu kitundu ekyo, omuli ab’omumagombolola nga Kyalulangira, Ddwaniro ne Lwanda, wakati mu nkola gye yagunjaawo egenderera okuzzaamu abalimi b’emmwanyi amaanyi emanyiddwanga “Emmwanyi terimba”, abategezezza nti oluvanyuma abadde wakugendako ne mu Ekelezia ye Kibaale yeetabe mu mmisa, ate ayolekere essomero lya St. Benard Secondary Mannya awaali enjega omuliro gye gwasanyawo abayizi.
Oluvanyuma Katikkiro akkiriziddwa okweyongerayo era bwafulumye nayogerako eri abamawulire ababadde bamulindiridde wabweru wa Hotel ya Brovad.
Ategezezza nti ensonga zonna bazimulungudde bulungi, era nga abadde talaba nsonga lwaki bamutangira okugenda okulambula abalimi, saako n’okusasira ku bantu abaafiirwa abaana baabwe, era ne yeyongerayo mu lugendo lwe.
Kinajjukirwa nti ObwaKamuswaga bwe Kooki bumaze ebbanga eliwerako nga bugugulana n’obwaKabaka bwa Buganda nga entabwe esinga kuva ku baKooki kye bagamba nti ObwaKabaka buyisa amaaso mu mukulembeze waabwe ow’ensikirano Owek. Apollo Ssansa Kabumbuli.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com