KKANSALA mu lukiiko lwa KCCA Muhamad Ssegiriinya nga ono olumu yeyita “Doboozi lye Kyebando” avudde mu mbeera n’asalawo okutwala akulira Poliisi ye Mulago ASP Wakisaada mu kakiiko ke ddembe ly’obuntu nga amulanga okumukkakanako n’amuwuttula agakonde ku sande bwe yali alaga obutali bumativu olw’embeera y’amazzi agakulukutira mu mayumba g’abantu bakikirira.
Oluvanyuma lwe nkuba eyafukumuka ku ssande eyaleka nga amazzi ganjaalidde mu amayumba g’abatuuze abasula mu Division ye Kawempe, amangu ago abatuuze basalawo okwekubira enduulu eri omubaka waabwe Muhamad Ssegiriinya naye eyajja amangu alabe ogubadde.
Ssegiriinya olwali okutuuka yasanga abatuuze bonna tebakyalina we bayita oluvanyuma lw’amazzi okubasalako mu mayumba gaabwe era nga n’ebintu byabwe eby’omuwendo bingi byali by’ononese byonna.
Olwali okutuukawo agamba nti yekanga amazzi n’ajjukira ebbanga lyamaze nga ategeeza ba Yinginiya ba KCCA amawulire agakwata ku mbeera y’emyala mu kitundu kye kyokka nga tebafaayo, nga kino kye ky’amukwasa ebidomola 2 n’abiseneramu amazzi era n’abyetikka okubyolekeza ekitebe kya KCCA, wabula yali agenda ne wabaawo abatuuze abatonotono abamuwerekerako oluvanyuma abawera Poliisi ye Mulago ne yekengera.
Ekyaddirira ye Offiisa wa Poliisi eyalina amayinja 3 okulagira basajja be bakwate Ssegiriinya nabo kye baakola, yatwalibwa ku Poliisi ye Mulago n’atekebwa mu kaddukulu ka Poliisi, kyokka agamba nti eky’amujja enviiri ku mutwe kwe kulaba eyakulira okumukwata nga amukkakanako okumukuba agakonde ag’okumukumu ne yebuuza gwe yali azizza.
“Newunya omuselikale ow’amayinja 3 gw’ennandisuubidde nti amanyi amateeka ate okunzikakkanako n’ankuba ebikonde ate nga amaze okunteeka mu kaddukulu ka Poliisi” Ssegiriinya bwe yategezezza.
Yasazeewo ku lw’okubiri okutwala ensonga ze mu kakiiko k’eddembe ly’obuntu bakwate ku mupoliisi eyamukuba avunanibwe.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com