Bya Moses Kizito Buule
OMUBAKA mu lukiiko olutaba amawanga g’obuvanjuba Mathias Kasamba alabudde abasomesa okukomya okusomesa abayizi amasomo ag’ekuusa ku ntalo, kyayogeddeko nga ekimu ku bivuddeko abayizi okutandika okwagala okugezesa bye basomeseddwa.
Kasamba agamba nti entekateeka y’ebyensoma mu ggwanga bisaana okukyusibwa naddala essomo ery’ebyafaayo kubanga omwana okuva mu siniya esooka okutuuka mu y’omukaaga aba yetoololera ku byafaayo eby’entalo, mpozzi n’okumuwanira abatemu nti baali b’amaanyi era abatta ennyo abantu nga kw’otadde okukyusa amawanga ag’enjawulo nga bayita mu ntalo.
Anokoddeyo entalo omuli Maji Maji Rebellion, Mau Mau Rebellion, Napolion ne ndala nnyingi z’agamba nti zongera kukuma mu bayizi omuliro nabo balabe oba basobola okukikola nga abazira abo.
Okw’ogera bino abadde ku ssomero lya St. Benard Manya e Rakai awagudde enjega abayizi 20 mwe bafiiridde mu muliro ogw’akutte ekisulo mwe basula n’abalala ne bagenda ne bisago mu kiro eky’akesezza olw’ammande.
Nga wano ategezezza abasomesa nti enkola y’okusomesa abaana eby’ekuusa ku ntalo esaana ekomezebwe, gyagambye nti elabika yevaako emitima emibi okujjula mu baana abato ne batuuka n’okukola ebikolobero.
Asabye ab’ebyokwerinda okufuba okunonyereza n’obwegendereza abakoze ekikolobero ky’okutekera ekisulo ky’abayizi omuliro omwafiiridde abatalina musango.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com