Bya Moses Kizito Buule
OMUMYUKA wa ssabaminisita ow’okubiri Haji Ali Kirunda Kivejjinja awadde amagezi abakulembeze be Ssaza lye Bungoma mu Ggwanga lye Kenya okuvaayo bakozese omwaganya gw’amakolero agaali kunsalo ya mawanga gombiriri okusobola okutumbula eby’enkulakulana mu kitundu kyabwe.
Kivejinja agamba nti amakolero okuli elikola ebigimusa Pulezidenti lye yagulawo gy’ebuvuddeko bw’ebagakozesa obulungi bagenda kugaganyulwamu nnyo ate ssi bokka wabula n’amawanga amalala mu Africa ey’omuseekati n’obuvanjuba.
Bino yabyogeredde mu ofiisi ye Kampala bwabadde ayaniriza ekibinja kya bakungu 45 abavudde mu ssaza lye Bungoma Kenya abakulembeddwamu Governor we ssaza lino Wycliffe Wagamati abazze okulaba nga banyweza omukango mu byesubulagana, mu by’obulamu, eby’obulambuzi n’ebyenjigiriza mu district za Uganda ez’okunsaalo.
Ono awadde bana Kenya amagezi okwekwata amakolero ga Uganda kubanga mu ebintu ebigenda okukolebwa mu factory nga Osukulu, bigenda kubaawo mu kiseera nga tebigwaawo, era abategezezza nga bwekiri mu mikono gyabwe okusalawo ku by’enkulakulana kulwabwe n’abaana babwe.
Amyuka ssenkulu ow’ekitongole ekisikiriza bamusinga nsimbi ekya Uganda Investment Authority Godfery Ssemakula ategezezzanga nga mu kiseera kino ekitongole bwekiri kuddimu ly’okubunyisa amakolero mu ggwanga lyonna bana Uganda bonna basobole okugabanaku kkeeki ye ggwanga.
Ssemakula agamba nti ebibanda by’amakolero 27 bye bigenda okutekebwa mu ggwanga lyonna nga kubino kuliko 4 ebya Science ne Tekinologiya okuwa omukisa buli kitundu kye ggwanga okulakulana n’okufunira abatuuze emilimu.
Amakolero ga Namanve yokka gakuwemeta obukadde bwa doola za America 245 okuteekamu enguudo, Amasanyalaze, saako n’amazzi n’ebyetagisa ebirala nagatako nti omulimu bwegunagwa basubira okuba n’amakolera 301 nga bana Uganda 200,000 be basubirwa okufuna emilimu.
Wabula anonokoddeyo obuzibu bwe bolekedde obw’okufuna ettaka okutali bantu ate ng’eririko abantu lyabuseere nnyo olw’okuba nti abantu babeera balina okuliyirirwa okusobola okuvaawo, era bwatyo nasaba gavumenti bwe wabaawo ettaka okutali kikolebwako libawebwe kisikirize bamusiga nsimbi okujja mu Uganda.
Ye omutandiisi w’omukaango gunno nga nye mubaka wa Uganda e Kenya Amb Phibby Awere Otala alaze obumativu nti ebintu eby’agulibwanga ebunayira kati bikolebwa wano, n’ategezza nga bwagenda okwogera okutunda ebyemaguzi bya Uganda mu mawanga amalala.
Ye Governor w’essaza lye Bungoma Wagamate agamba nti bagenda kwekenenya emikisa egiliwo okutumbula enkola gana wakati wamawanga ng’ombi n’addala district eziri kunsalo eyawula amawanga ago.
Agamu ku makolera gebalambudde mwe muli Namunkekera Rural Industrial Center esangimbwa e Kapeka eyatandikbwawo muto w’omukulembeze we ggwanga Gen SalimSaleh, Roofings Limited, Quality Chemicals n’amalala.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com