Warning: Trying to access array offset on value of type bool in
/home/90/81/2028190/web/wp-content/themes/jnews/class/Image/ImageNormalLoad.php on line
70
Warning: Trying to access array offset on value of type bool in
/home/90/81/2028190/web/wp-content/themes/jnews/class/Image/ImageNormalLoad.php on line
73
OMUKAZI ayekwata akatambi gye buvuddeko nga atisatiisa okw’eyambulamu engoye agende mu maaso ga Pulezidenti ng’aali bute amulage ebitundu bye eby’ekyama bwaba agaanye okuyimbula omubaka wa Kyadondo East Robert kyagulanyi, akwatiddwa era n’aggulwako emisango omuli ogw’okuwebuula Omukulembeze we Ggwanga saako n’okukozesa obubi ekyuma ki kali magezi.
Suzan Namata y’akwatiddwa bambega ba Poliisi nga kigambibwa nti mu mwezi gw’omwenda omwaka guno yalabikira mu katambi ku mikutu emigatta bantu ng’ayogera ebigambo ebisongovu era n’atisatiisa n’okweyambulamu engoye alumbe Pulezidenti amulage nga bwe yakula singa talagira ab’ebitongole bye by’okwerinda bate omubaka Kyagulanyi eyali asibiddwa mu kkomera e Makindye ku misango gy’okulya mu nsi olukwe oluvanyuma lw’okukwatibwa bwe yali mu Arua.
Vicent Sekatte ayogerera ekitongole ekinonyereza ku misango mu Poliisi agambye nti Namata bamaze akaseera nga bamunoonya era bamukutte, era olw’aleero wakusimbibwa mu maaso g’omulamuzi ku kooti y’okuluguudo Buganda avunanibwe emisango omuli ogw’okuwebuula omuntu omukulu ate ow’obuvunanyizibwa mu Ggwanga nga akozesa emikutu gya yintanenti.
“Namata Tukutte era tumulina era waliwo ne munne bwe baali mu katambi aky’anonyezebwa, bano balabibwa nga bakozesa ebigambo ebiwemula nga bavuma Pulezidenti we Ggwanga fayiro yaabwe yawedde dda okuvaayo ew’omuwaabi we misango gya Gavumenti era ono ye tugenda kumutwala leero mu kkooti avunanibwe.” Sekatte bwe yagambye.
Okusinziira ku Ssemateeka we Ggwanga Uganda ekatundu aka 25 kagamba nti omuntu yenna okukozesa obubi ekyuma ki kalimagezi n’atataganya emirembe gy’abalala, oba okulinyirira eddembe lyabala nga abawebuula mu lujjudde, omusango bwe gumusinga asibwa omwaka gumu, okusasula ensimbi za Uganda emitwalo 480,00o oba okukola byombi
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com