Bya Moses Kizito Buule
OBUKENKE bweyogedde mu ggombolola ye Ntenjeru e Mukono oluvanyuma lw’abazigu ab’ebijambiya okuyingirira abatuuze abalala ne babafumita ebiso ne baleka omukyala asulirira okuzaala nga ataawa.
Brendah Nabukenya omutuuze ku kyalo Bugolombe mu muluka gwe Ntanzi ye yasimatuuse abatemu kiro eky’akesezza olw’okusatu bwe babayingiridde mu nyumba mwasula ne nyina saako n’abaane be ababiri mu budde obw’ekiro nebatandiika okumukanda ensimbi ze yabadde talina mu kiseera ekyo.
Nabukenya ow’olubuto olw’emyezi omusanvu eyasangiddwa mu ddwaliro lya Kojja Health Center IV, yategezezza nti babadde mu ddiiro ekiro nga balya ekyeggulo omusajja kwe kusamba oluggi n’eyesogga mu nju munda amangu ago yasiseeyo ekiso nga kitemagana n’atandika okubasaba ensimbi saako n’essimu era n’abategeeza nti singa bibalema yabadde w’akubasanjaga bonna.
“ Yalabye tetwenyenya n’asalawo okukwata omwana wange ow’emyaka 12 n’agezaako okugenda naye, kyokka ffena twalabye guli gutyo ne tutandika okw’elwanako nga tukozesa ebintu eby’atubadde okumpi, era wano we n’akwatidde akasigiri akabadde kaayatika ne nkamukuba ku mutwe awo n’asuula omwana nadduka.”Nabukenya bwategezezza.
Nabukenya agamba nti mu kiseera kino awulira nga okugulu kumuluma nnyo, era nga tasobola yadde okuyimirira yadde okutambula nga waaba talina amuyambako byonna biba bizibu kubanga ekiso kyamuyise mu kugulu okw’akkono.
Akulira eby’okwerinda mu ggombolola eno Samuel Ikomba yagambye nti okumala emyezi mukaanga ekitundu kino tekibadde mu mbeera nungi nga basooka n’ababbi bente nga bazibba nebazibaaga ne bazitwalira mu motooka, nga kati ekizeeko bwe butemu bwe bijambiya bye babadde bawulira obuwulizi mu bitundu ebilala.
Wanno wasambidde abatuuze okulaba nga bafaayo nnyo kuby’okwerinda mu kitundu kyabwe, nategezza nti yadde nga bo nti bebalina obuvunanyizibwa bw’okubakuma naye ate nabo balina okufaayo ennyo .
Yagambye nti balowooza nti obutemu buvudde ku bbula ly’emirimu eliri mu kitundu kino, nga kati abavubuka bangi tebalina bye bakola oluvanyuma lw’okugobwa mu bibuga ne ku nnyanja gye babadde bakolera okusobola okufuna ensimbi ezibabezaawo.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com