Bya Moses Kizito Buule
ABAKULEMBEZE b’obukiiko bwe byalo mu Gombolola ye Kapeeka mu Disitulikiti ye Nakaseke balaze obutali bumativu olwa Gavumenti obutafaayo kubadduukirira n’ebikozesebwa mu bulamu obw’abulijjo naddala nga bafunye ebizibu omuli okufiirwa abantu baabwe nga kwotadde ne bikozesebwa mu kukola bulungi bwansi.
Bano bagamba nti obukiiko obupya tebulina kye bwasangawo nga bujja mu bukulembeze kubanga abaliwo baali bamaze ebbanga ddene nga n’obuvunanyizibwa babusuula dda, nga kati kyetaagisa bano abaliwo okubazzaamu amaanyi basobole okukola emirimu egiyamba abatuuze baabwe okw’ekulakulanya.
Okwogera bino babadde ku kyalo Bamusuuta ekisangibwa mu muluka gwe Namusaale ku mukolo ogw’ategekeddwa omuwanika w’ekibiina ekigatta bannamawulire ekya Uganda Journalists Association (UJA), Esther Nakawooya, era nga mwana nzaalwa ow’ekitundu kino, kwe yagabidde amasowaani ne seppiki ebikozesebwa mu maka saako ne mbeera eya munno mu kabi eri abakulembeze b’obukiiko bwe byalo abawezeeko.
Nakawooya yagambye nti kino yakikoze okusobola okuzaamu amaanyi abakulembeze abaggya, saako n’okusitula ekitundu gy’azaalibwa mu byenkulakulana.
“Ffe abaana enzaalwa ab’e Nakaseke bwe tutaveeyo kuyambako ku mbeera eno era tujja kwenenyanga ffekka kubanga abakulembeze be twalonda tebafaayo, kubanga bafuna omusaala mungi naye kyebazza eri omuntu w’awansi tekilabikako, kale tulina okw’efaako okusobola okusitula ekitundu kyaffe.” Nakawooya bwe yategezezza.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com