Bya Moses Kizito Buule.
ABANTU babbiri batwaliddwa mu ddwaliro e Nsambya nga biwala ttaka oluvanyuma lw’okufuna akabenje ku kyalo Kyetume mu Gombolola ye Nakisunga e Mukono, kuluguudo oluva e Mukono okudda e Katosi ne bakutuuka amagulu.
Abagudde ku kabenje kuliko Isaac Sekibuule wamu Stanley Semakula nga babadde batambulira ku bodaboda ebadde eva e Mukono okudda e Katosi.
Okusinzira ku babaddewo ng’akabenje kano kagwawo bategezezza ng’abantu bano okufuna kabenje bwe kivudde motooka eye kika kya Prado namba UAH 968Z ebadde eva e Katosi okudda e Mukono okwabiika omupiira nga kino kiletedde omugoba wa bodaboda okw’ekanga natagala nagwa mu nku eziri okumpi n’ekkubo lino.

Bano bagenze mu maaso nebategezza nti oluvanyuma lw’emmotoka okwabiika omupiira owa bodaboda yekanze era ababaddeko nabo kw’ekwekanga n’ebatomera enku bwe batyo nebayitako waggulu nebesogga ebinywa bye nku.
Isaac Sekibuule, wakati mubulumi ategezezza abaddukirize nga bwabadde yakamala okuziika mwanyina eyaffiridde mu kabenje sabbiti eno yennyini, kyokka ono obwedda omusaayi ate ye gumuyitamu nnyo kuba ekisambi kyakutuusemu wakati.

Addumira poliisi y’ebidduka mu Disitulikiti ye Mukono ASP Constantine Murangwa akakasizza akabenje kano n’ategezza ng’abalwadde bwe batwaliddwa mu ddwaliro e Nsambya ate ye omugoba wa Prado n’ategeeza nti bamulina nga mu kiseera kino akumibwa ku poliisi e Mukono ng’okunonyereza bwekugenda mu maaso.
Oluguudo luno ensangi zino nalwo kati lufuuse kattiro nga gy’ebuvuddeko waliyo famiree yaffa ekimotoka ekikola oluguudo luno bwe kyatomera bodaboda kwebalibatambulira
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com