Bya Moses Kizito Buule
GAVUMENTI etaddewo ensimbi z’aUganda obuwumbi 7 nga zino ze zigenda okukozesebwa okutwala amazzi mu bitundu bye byalo ebili mu Disitulikiti okuli Luwero ne Mukono.
Enteekateeka eno yatongozeddwa Minisita omubeezi ow’amazzi Ronald Kibuule ku kyalo Namasumbi mu ggombolola y’e Kyampisi mu disitulikiti y’e Mukono.
Kibuule yagambye nti amazzi gano gagenda kuva e Busiika mu disitulikiti y’e Luweero gye gagenda okusooka okugabanyizibwa mu byalo eby’enjawulo nga 5 gayite mu Kabuga k’e Namasumbi okugenda ku ssomero lya Namasumbi UMEA S.S.S ewagenda okuzimbibwa ttanka egenda okutereka lita emitwalo 3 olwo nga wano gye gajja okuva okusasaanira ebyalo eby’enjawulo mu muluka gw’e Ntonto mu ggombolola y’e Kyampisi mu disitulikiti y’e Mukono.
Kibuule yagambye nti amazzi gano gaakuwemmenta obuwumbi bw’ensimbi za Uganda musanvu nga zaaweereddwayo African Development Bank.
Kibuule ng’ali n’abakulu abalala okuva mu minisitule y’amazzi n’abakulembeze b’eggombolola y’e Kyampisi basoose kutema vvuunike ku ssomero lya Namasumbi UMEA ewagenda okuzimbibwa ttaka ey’okuterekebwamu amazzi olwo galyoke gasaasaanyizibwe mu byalo eby’enjawulo. Bino byabaddewo ku Lwokutaano.
Oluvannyuma baasisinkanye abatuuze abaabadde bakungaanidde mu katawuni k’e Namasumbi ne babalambulirira kalonda akwata ku nteekateeka z’amazzi gano. Kibuule yagambye nti ono y’omu ku kaweefube ali mu nteekateeka nnamutayiika owa gavumenti ya NRM okulaba ng’abantu mu disitulikiti zonna bafuna amazzi amayonjo.
Ate Ying. Pual Kato okuva mu minisitule yagambye nti amazzi gano gagenda kuba gakolebwako mu bwangu okutuuka mu mwezi gwa June omwaka ogujja nga gajja kuba gaatuuka dda ku bantu.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com